Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | ENOKA

‘Yasanyusa Katonda’

‘Yasanyusa Katonda’

ENOKA yawangaala emyaka 365. Emyaka egyo gikubisaamu emirundi ena emyaka gy’omuntu aba awangadde ennyo mu kiseera kino. Kyokka Enoka teyawangaala nnyo bw’omugeraageranya n’abantu abalala abaaliwo mu kiseera kye. Mu kiseera ekyo, emyaka egisukka mu 5,000 emabega, abantu baawangaalanga nnyo. Enoka yagenda okuzaalibwa, nga Adamu omuntu eyasooka okutondebwa yaakabeerawo emyaka egisukka mu 600. Oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Enoka, Adamu yawangaala emyaka emirala 300! Abamu ku bazzukulu ba Adamu baawangaala okumusinga. N’olwekyo, ku myaka 365, Enoka ayinza okuba nga yali akyalabika ng’omuvubuka era ng’akyasuubira okubeerawo emyaka emirala mingi. Naye bambi, ekyo tekyasoboka.

Obulamu bwa Enoka bwali mu kabi. Kuba akafaananyi ng’adduka yeekweke, era ng’alowooza ku ngeri abantu gye baali bamukambuwalidde oluvannyuma lw’okubabuulira obubaka obwava eri Katonda. Bonna baali batunuza bukambwe. Abantu abo baali tebamwagalira ddala. Baali tebaagala bye yali ababuulira, era nga ne Katonda eyamutuma tebamwagala. Yakuwa Katonda wa Enoka baali tebalina kye bayinza kumukola, naye baali basobola okutuusa akabi ku Enoka. Oboolyawo Enoka yali yeebuuza obanga yandizzeemu okulaba ku bantu be. Yandiba nga yalowooza ku mukyala we ne bawala be, ku mutabani we Mesuseera, oba ku muzzukulu we Lameka? (Olubereberye 5:21-23, 25) Ebibye byali bikomye?

Enoka tayogerwako nnyo mu Bayibuli. Kyokka bye tumusomako mu nnyiriri entono ezimwogerako bituyamba okukiraba nti yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Olubereberye 5:21-24; Abebbulaniya 11:5; Yuda 14, 15) Ofuba okulabirira ab’omu maka go? Wali weesanzeeko mu mbeera enzibu era nga si kyangu kunywerera ku kituufu? Bwe kiba bwe kityo, olina bingi by’osobola okuyigira ku Enoka.

“ENOKA YATAMBULANGA NE KATONDA OW’AMAZIMA”

Enoka yaliwo ku mulembe gwa musanvu okuva ku Adamu. Mu kiseera ekyo, emibiri gy’abantu kumpi gyali gituukiridde ng’ogwa Adamu n’ogwa Kaawa bwe gyali nga tebannayonoona. Eyo ye nsonga lwaki baawangaalanga nnyo. Kyokka empisa zaabwe zaali zoonoonese nnyo era nga tebatya Katonda. Ensi yali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. Embeera eyo yali yatandika emyaka mingi emabega, Kayini bwe yatta muganda we Abbeeri. Omu ku bazzukulu ba Kayini yeewaana n’okwewaana nti yali mukambwe okusinga Kayini. Oluvannyuma lw’ekiseera, waliwo ekintu ekirala ekibi ennyo abantu kye baatandika okukola. Baatandika okukoowoola erinnya lya Yakuwa, naye nga tebakikola mu ngeri emuweesa ekitiibwa. Kirabika baali balikozesa mu ngeri erivvoola.Olubereberye 4:8, 23-26.

Mu kiseera kya Enoka, kirabika eyo ye ddiini ey’obulimba eyali etutumuse. Enoka bwe yagenda akula, yalina okusalawo obanga yandibadde ng’abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo, oba yandinoonyezza Yakuwa Katonda ow’amazima, eyatonda eggulu n’ensi. Ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yategeera ebikwata ku Abbeeri eyattibwa olw’okuba yali asinza Yakuwa mu ngeri entuufu. Bw’atyo Enoka yasalawo okukoppa Abbeeri. Olubereberye 5:22 wagamba nti: “Enoka yeeyongera okutambula ne Katonda ow’amazima.” Ebigambo ebyo biraga nti Enoka yali atya Katonda wadde ng’abantu be yalimu baali babi nnyo. Ye muntu Bayibuli gw’esooka okwogerako bw’etyo.

Olunyiriri olwo lulaga nti Enoka bwe yamala okuzaala Mesuseera, yeeyongera okutambula ne Yakuwa. Mu kiseera ekyo Enoka yali awezezza emyaka nga 65. Yalina omukyala, Bayibuli gw’etatubuulira linnya, era yalina n’abaana abalala “ab’obulenzi n’ab’obuwala” abatamanyiddwa muwendo. Omusajja alina amaka bw’aba nga wa kutambula ne Katonda, alina okulabirira ab’omu maka ge nga Katonda bw’ayagala. Enoka yali akimanyi nti Katonda yali ayagala abe mwesigwa eri mukyala we. (Olubereberye 2:24) Kirabika Enoka yafuba nnyo okuyigiriza abaana be ebikwata ku Yakuwa Katonda. Biki ebyavaamu?

Bayibuli teyogera bingi ku nsonga eyo. Etubuulira bitono nnyo ku mutabani wa Enoka eyali ayitibwa Mesuseera. Mesuseera ye muntu eyasinga okuwangaala ku bantu bonna aboogerwako mu Bayibuli, era yafa mu mwaka amataba lwe gajja ku nsi. Mesuseera yazaala Lameka. Lameka yazaalibwa nga jjajjaawe Enoka akyaliwo, era Enoka we yafiira, Lameka yali aweza emyaka egisukka mu kikumi. Lameka naye yalina okukkiriza. Yakuwa yamuluŋŋamya n’ayogera obunnabbi obukwata ku mutabani we Nuuwa, era obunnabbi obwo bwatuukirira ng’amataba gamaze okubaawo. Okufaananako Enoka, Nuuwa naye ayogerwako ng’omuntu eyatambula ne Katonda. Nuuwa teyalaba ku Enoka, naye Enoka yamuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ebikwata ku Enoka Nuuwa ayinza okuba nga yabimanyira ku kitaawe Lameka oba ku jjajjaawe Mesuseera, oba ku Yaledi kitaawe wa Enoka eyafa nga Nuuwa wa myaka 366.Olubereberye 5:25-29; 6:9; 9:1.

Enoka yali muntu wa njawulo nnyo ku Adamu. Wadde nga Adamu yali atuukiridde, yajeemera Yakuwa ne kiviirako bazzukulu be okubonaabona. Kyokka wadde nga Enoka yali tatuukiridde, yakola Katonda by’ayagala, bw’atyo n’ateerawo bazzukulu be ekyokulabirako ekirungi. Adamu yafa nga Enoka alina emyaka 308. Tetumanyi obanga Adamu bwe yafa abantu baalumwa. Naye kye tumanyi kiri nti Enoka ye “yatambulanga ne Katonda ow’amazima.”Olubereberye 5:24.

Bw’oba ng’olina amaka, biki by’oyinza okuyigira ku Enoka? Wadde nga kikulu okufunira ab’omu maka go bye beetaaga, okubalabirira mu by’omwoyo kye kisinga obukulu. (1 Timoseewo 5:8) Ekyo tokikola mu bigambo byokka, naye era ne mu bikolwa. Bw’otambula ne Katonda nga Enoka bwe yakola, n’ofuba okukolera ku ebyo by’oyiga mu Kigambo kya Katonda, ojja kuba oteerawo ab’omu maka go ekyokulabirako ekirungi.

ENOKA ‘YABOOGERAKO’

Enoka yali ng’ali yekka mu nsi eyali ejjuddemu abantu abataalina kukkiriza. Naye Yakuwa Katonda we yali alaba embeera gye yalimu. Lwali lumu Yakuwa n’awa Enoka obubaka abutegeeze abantu. Bw’atyo Katonda yamufuula nnabbi, era ye nnabbi asooka okwogerwako mu Bayibuli. Ekituyamba okutegeera ekyo kwe kuba nti oluvannyuma lw’emyaka mingi, Yuda muganda wa Yesu yawandiika obunnabbi Enoka bwe yalangirira. *

Bubaka ki Enoka bwe yalangirira? Yagamba nti: “Yakuwa yajja ne bamalayika be abatukuvu mitwalo na mitwalo, okulamula abantu bonna, n’okusingisa omusango abo bonna abatatya Katonda olw’ebintu byonna ebitali bya butuukirivu bye baakola, n’olw’ebintu byonna ebibi aboonoonyi abatatya Katonda bye baamwogerako.” (Yuda 14, 15) Ebigambo Enoka bye yakozesa byali ng’ebiraga nti obubaka obwo bwali bumaze okutuukirira. Ne bannabbi ba Katonda abalala baalangirira obubaka bwabwe mu ngeri y’emu. Baakolanga bwe batyo olw’okuba obubaka bwe baali balangirira bwali buteekwa okutuukirira, era nga basobola okubulangirira ng’obumaze okutuukirira!Isaaya 46:10.

Enoka yabuulira n’obuvumu mu nsi eyalimu abantu ababi ennyo

Enoka bwe yali alangirira obubaka obwo, embeera yali etya mu nsi? Enoka yagamba nti abantu baali ‘tebatya Katonda,’ baali bakola “ebitali bya butuukirivu,” era baali ‘boonoonyi.’ Olw’okuba ensi yali eyonoonese nnyo, Enoka yalabula abantu nti Katonda yali agenda kujja ne “bamalayika be abatukuvu” azikirize abantu ababi bonna. Wadde nga Enoka yali bw’omu, teyatya kulagirira bubaka obwo. Lameka eyali akyali omuto mu kiseera ekyo, yandiba nga yeewuunya nnyo bwe yalaba jjajjaawe Enoka ng’alangirira obubaka obwo n’obuvumu.

Bwe tulowooza ku Enoka, tuyinza okwebuuza obanga naffe ensi eno tugiraba nga Katonda bw’agiraba. Obubaka Enoka bwe yalangirira bukwata ne ku bantu abaliwo leero. Obubaka obwo bwatuukirira Yakuwa bwe yaleeta amataba mu kiseera kya Nuuwa n’azikiriza abantu ababi bonna. Ekyo ekyatuuka ku bantu b’omu kiseera kya Nuuwa, kiraga ekinaatera okutuuka ku bantu bonna ababi abaliwo leero. (Matayo 24:38, 39; 2 Peetero 2:4-6) Katonda agenda kukozesa bamalayika be abatukuvu okuzikiriza abantu abatatya Katonda. Ffenna tusaanidde okulowooza ku kulabula okuli mu bunnabbi bwa Enoka era tulabule n’abantu abalala. Ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe bayinza okutwabulira. Oluusi tuyinza n’okuwulira ng’abasigadde ffekka. Naye ka tukijjukire nti Yakuwa teyayabulira Enoka era naffe tayinza kutwabulira.

“YATWALIBWA ALEME OKULABA OKUFA”

Tewali amanyi ngeri Enoka gye yafaamu. Bayibuli egamba bugambi nti: “Enoka yatambulanga ne Katonda ow’amazima. Naye teyaddamu kulabika nate, kubanga Katonda yamutwala.” (Olubereberye 5:24) Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Omutume Pawulo yannyonnyola kye bitegeeza. Yagamba nti: “Olw’okukkiriza, Enoka yatwalibwa aleme okulaba okufa, era tewali wonna we yali ayinza kusangibwa kubanga Katonda yamutwala; naye bwe yali nga tannatwalibwa, Katonda yakiraga nti yali amusanyusizza.” (Abebbulaniya 11:5) Enoka yatwalibwa wa? Enkyusa za Bayibuli ezimu zigamba nti Katonda yatwala Enoka mu ggulu. Naye ekyo si kituufu, kubanga Bayibuli eraga nti Yesu Kristo ye muntu eyasooka okuva ku nsi n’agenda mu ggulu.Yokaana 3:13.

Kati olwo ebigambo “yatwalibwa aleme okulaba okufa” bitegeeza ki? Kirabika Yakuwa ye yakomya obulamu bwa Enoka, abantu ababi baleme kumutta mu ngeri ey’obukambwe. Naye Enoka bwe yali tannafa, yafuna obukakafu obulaga nti yali asiimibwa Katonda. Mu ngeri ki? Kirabika Enoka yafuna okwolesebwa okuva eri Katonda, era oboolyawo mu kwolesebwa okwo Katonda yamulaga ensi empya. Omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Enoka n’abantu abalala abaali abeesigwa eri Katonda: “Bano bonna baafa nga balina okukkiriza.” (Abebbulaniya 11:13) Oluvannyuma abalabe ba Enoka bayinza okuba nga baanoonya omulambo gwe, naye “tewali wonna we yali ayinza kusangibwa.” Kirabika Katonda yaguggyawo abantu baleme kuguweebuula oba kugukozesa mu kusinza okw’obulimba. *

Nga tulina ebyo mu birowoozo, kati ka tulowooze ku ngeri Enoka gy’ayinza okuba nga yafaamu. Kuba akafaananyi nga Enoka adduka era ng’alabika amaanyi gamuwedde. Abantu bamugoba, era bonna baswakidde olw’ebyo bye yali abagambye. Enoka afuna ekifo ne yeekweka, naye akimanyi nti ekiseera kyonna bajja kumuzuula bamugajambule. Ng’ali eyo, asaba Katonda we era mu kiseera ekyo kyennyini, afuna okwolesebwa n’awulira ng’ali mu kifo ekirala awali emirembe.

Kirabika Yakuwa yatwala Enoka olw’okuba abantu baali baagala kumutta

Kuba akafaananyi ng’alaba ensi ey’enjawulo ennyo ku eyo gy’alimu. Ensi eyo erabika bulungi nnyo, era efaanana ng’olusuku Edeni, naye teriimu bamalayika bagikuuma kukugira bantu kugendayo. Alaba abasajja n’abakazi bangi, nga bonna balabika bulungi era nga balamu bulungi. Bonna bakolagana bulungi era tewali ayigganyizibwa olw’okusinza Katonda ow’amazima. Enoka akitegeera nti Yakuwa amwagala nnyo era nti asiima by’akola. Mukakafu nti ensi eyo gy’alaba mw’alina okubeera, era nti luliba olwo n’agituukamu. Ng’ali mu mbeera eyo, era ng’awulira emirembe egitagambika, Enoka azibiriza amaaso ne yeebaka otulo otungi ennyo.

Ne leero Enoka akyali mu mbeera eyo, era Yakuwa Katonda akyamujjukira. Yesu yagamba nti olunaku lulituuka bonna abali ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaayo, ne babeera mu nsi empya eribaamu emirembe.Yokaana 5:28, 29.

Naawe wandyagadde okubeera mu nsi eyo? Kuba akafaananyi ng’onyumyako ne Enoka. Lowooza ku bintu by’ayinza okukunyumiza. Ayinza okutubuulira obanga bye twogedde ku ngeri gye yafaamu ddala bwe byali. Naye waliwo kye tusobola okumuyigirako kati. Omutume Pawulo bwe yamala okwogera ku Enoka yagamba nti: “Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda.” (Abebbulaniya 11:6) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okukoppa okukkiriza kwa Enoka.

^ lup. 14 Abeekenneenya Bayibuli abamu bagamba nti Yuda bye yawandiika ebikwata ku Enoka yabiggya mu kitabo ekiyitibwa Ekitabo kya Enoka. Eyawandiika ekitabo ekyo tamanyiddwa, era n’abo abagamba nti Enoka ye yakiwandiika si bafuufu. Ekitabo ekyo kirimu ebigambo byennyini Enoka bye yayogera, naye eyabiwandiika ayinza okuba nga yabiggya mu kiwandiiko eky’edda ekitakyaliwo oba nga yabiwulira buwulizi mu lugero. Yuda naye ayinza okuba nga yabiggya mu kiwandiiko eky’edda, oba nga yabiwulirira ku Yesu kubanga Yesu bwe yali akyali mu ggulu yalabanga Enoka.

^ lup. 20 Kirabika Katonda yaggyawo omulambo gwa Musa n’ogwa Yesu olw’ensonga ze zimu.Ekyamateeka 34:5, 6; Lukka 24:3-6; Yuda 9.