Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KISOBOKA OKUTEGEERA BAYIBULI?

Lwaki Kikulu Okutegeera Ebiri mu Bayibuli?

Lwaki Kikulu Okutegeera Ebiri mu Bayibuli?

“Bayibuli kitabo kya ddiini ekimanyiddwa ennyo. Naye si kitabo kya Bacayina era si kyamugaso gye bali.”—BYAYOGERWA LIN, OW’OMU CHINA.

“Olaba n’ebitabo ebitukuvu eby’eddiini yange ey’Abahindu byannema okutegeera, kati olwo nnyinza ntya okutegeera Bayibuli?”—BYAYOGERWA AMIT, OW’OMU BUYINDI.

“Bayibuli ngissaamu ekitiibwa kubanga kitabo kya dda era nnawulira nti kye kisinga okugulibwa. Naye nze sigirabangako.”—BYAYOGERWA YUMIKO, OW’OMU JAPAANI.

Abantu bangi okwetooloola ensi Bayibuli bagissaamu nnyo ekitiibwa. Kyokka bangi tebamanyi bigirimu era n’abo abaliko bye bamanyi, bamanyi bitono ddala. Ekyo kituufu nnyo bwe kituuka ku bantu ababeera mu nsi eziri mu ssemazinga wa Asiya. Naye era ne mu nsi Bayibuli mwe zibunyisiddwa ennyo, bangi tebamanyi bigirimu.

Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Okutegeera ebiri mu Bayibuli kingasa kitya?’ Okutegeera ebiri mu kitabo ekyo ekitukuvu kijja kukusobozesa:

  • Okuba omumativu era omusanyufu

  • Okugonjoola ebizibu by’amaka

  • Okwaŋŋanga ebikweraliikiriza

  • Okukolagana obulungi n’abalala

  • Okumanya engeri y’okukozesaamu obulungi ssente zo

Ng’ekyokulabirako, Yoshiko abeera mu Japaani yayagalanga okumanya ebiri mu Bayibuli era n’asalawo okugisoma. Biki ebyavaamu? Agamba nti, “Bayibuli ennyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Kati obulamu bwange bulina ekigendererwa.” Amit, ayogeddwako waggulu, naye yasalawo okusoma Bayibuli. Agamba nti: “Nneewuunya nnyo okukimanya nti Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba buli muntu.”

Bayibuli eyambye abantu bukadde na bukadde. Lwaki naawe togisoma n’olaba engeri gy’eyinza okukuyambamu?