Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Lwaki Katonda Ayagala Tumusabe?

Lwaki Katonda Ayagala Tumusabe?

Katonda ayagala obeere mukwano gwe.

Ab’emikwano bawuliziganya basobole okuba n’enkolagana ennungi. Mu ngeri y’emu, Katonda ayagala twogere naye tusobole okuba n’enkolagana ennungi naye. Agamba nti: ‘Mulinkaabira, era mulinsaba, nange ndibawulira.’ (Yeremiya 29:12) Gy’onookoma okusaba Katonda, gy’ojja okukoma okuba n’enkolagana ennungi naye. (Yakobo 4:8) Bayibuli etukakasa nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.” (Zabbuli 145:18, NW) Gye tukoma okusaba Katonda, gye tukoma okuba mikwano gye egy’oku lusegere.

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.”Zabbuli 145:18, NW

Katonda ayagala okukuyamba.

Yesu yagamba nti: “Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng’amusabye omugaati? Oba amuwa omusota ng’amusabye ekyennyanja? N’olwekyo, oba nga mmwe . . . musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebintu ebirungi abo abamusaba!” (Matayo 7:9-11) Katonda ayagala omusabe kubanga “akufaako” era ayagala okukuyamba. (1 Peetero 5:7) Ate era ayagala omusabe bw’oba n’ebikweraliikiriza. Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”Abafiripi 4:6.

Abantu balina obwetaavu obw’okusaba Katonda.

Abakugu mu kwekenneenya embeera z’abantu baakizuula nti abantu bukadde na bukadde bawulira nti beetaaga okusaba Katonda. Abantu abatakkiriza nti Katonda gy’ali nabo oluusi basaba. * Ekyo kiraga nti bantu baatondebwa nga balina obwetaavu obw’eby’omwoyo. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Emu ku ngeri gye tuyinza okukola ku bwetaavu obwo, kwe kusaba Katonda buli lunaku.

Bwe tusaba Katonda, miganyulo ki gye tufuna?

^ lup. 8 Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa aba Pew Research Center mu 2012, mu Amerika abantu 11 ku buli kikumi abatakkiriza nti Katonda gy’ali basaba waakiri omulundi gumu mu mwezi.