Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Bukakafu ki obulaga nti ekibuga Yeriko kyawambibwa mu kiseera kitono nnyo oluvannyuma lw’okukizingiza?

Okusinziira ku Yoswa 6:10-15, 20, eggye lya Isiraeri lyetooloola ekibuga Yeriko omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw’omusanvu, eggye eryo lyetooloola ekibuga ekyo emirundi musanvu, era Katonda n’aleetera bbugwe w’ekibuga ekyo okugwa. Ekyo kyasobozesa Abaisiraeri okuyingira mu kibuga Yeriko ne bakiwamba. Waliwo ebintu ebizuuliddwa ebikakasa nti ekyo Bayibuli ky’eyogera kituufu?

Mu biseera by’eddda, amagye bwe gaabanga gagenda okulumba ekibuga ekiriko bbugwe, gaasookanga kukizingiza. Amagye ka gabe nga gaamalanga kiseera kyenkana wa nga gazingizza ekibuga, bwe gaakiwambanga, gaatwalanga eby’obugagga ebyabanga mu kibuga ekyo nga mw’otwalidde n’emmere gye gaasangangamu. Kyokka, abayiikuuzi bwe baayiikuula awaali ekibuga Yeriko, baasanga emmere nnyingi. Magazini eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti: “Ng’oggyeeko ebintu eby’ebbumba, ekintu ekirala ekyazuulibwa mu bungi awaali ekibuga ekyo ye mmere enkalu. . . . Ekyo si kya bulijjo, naddala bw’olowooza ku bintu ebizze bizuulibwa mu bitundu bya Palesitayini. Ensumbi emu oba bbiri ez’emmere ze zitera okuzuulibwa, naye okusanga emmere ennyingi bw’etyo, si kintu kya bulijjo.”

Okusinziira ku Byawandiikibwa, Abaisiraeri baalina ensonga eyandibaleetedde obutatwala mmere eyali mu kibuga Yeriko. Yakuwa yali abalagidde obutatwala kintu kyonna. (Yos. 6:17, 18) Abaisiraeri baalumba ekibuga mu kiseera ky’amakungula, emmere enkalu we yabeereranga ennyingi. (Yos. 3:15-17; 5:10) Okuva bwe kiri nti emmere enkalu nnyingi yasangibwa awaali ekibuga Yeriko, kiraga nti ekiseera Abaisiraeri kye baamala nga bakizingizza kyali kitono ddala. Ekyo kikwatagana bulungi n’ekyo Bayibuli ky’egamba.