Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Bwe Kiba nti Kingsley Asobola, Nange Nsobola!’

‘Bwe Kiba nti Kingsley Asobola, Nange Nsobola!’

KINGSLEY bamukoonako ku kibegaabega n’atandika okusoma Bayibuli. Eno y’emboozi gy’asoose okuwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Buli kigambo ky’asoma akyatula bulungi, nga talina nnukuta gy’abuukamu. Naye ekyewuunyisa kiri nti Kingsley asoma tatunudde mu Bayibuli. Lwaki kiri kityo?

Kingsley, abeera mu Sri Lanka era muzibe w’amaaso. Okugatta ku ekyo tawulira bulungi. Naye Kingsley yayiga atya ebikwata ku Yakuwa n’atuuka n’okuyingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda? Ka mbabuulire.

Ku mulundi gwe nnasooka okusisinkana Kingsley, nnakiraba nti yali ayagala nnyo okuyiga Bayibuli era ekyo kyankwatako nnyo. Yali yayigako Bayibuli n’Abajulirwa abawerako, era ekitabo kye Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ekyali mu lulimi lwa bamuzibe kyali kikaddiye nnyo. * Yakkiriza okuddamu okuyiga Bayibuli, naye waaliwo obuzibu bwa mirundi ebiri.

Obusooka, Kingsley yali abeera n’abantu bangi mu kifo awalabirirwa bannamukadde n’abantu abalala abaliko obulemu. Olw’okuba waaliwo ebintu bingi ebireekaana mu kifo ekyo, ate nga Kingsley tawulira bulungi, nnalinanga okwogerera waggulu. Mu butuufu buli omu yawuliranga bye twabanga twogera bwe twabanga tusoma buli wiiki!

Obw’okubiri, Kingsley yali tasobola kuyiga bintu bingi mulundi gumu. N’olwekyo, okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma kwaffe, Kingsley yanyiikiranga nnyo okutegeka. Olunaku lwe twasomerangako bwe lwabanga terunnatuuka, yayitanga mu ebyo bye twabanga tugenda okusoma emirundi n’emirundi, n’akebera ebyawandiikibwa mu Bayibuli ye eya bamuzibe, era n’akwata eby’okuddamu mu mutwe. Ekyo kyamuyamba nnyo. Bwe twabanga tusoma yatuulanga wansi ku kigoye, era bwe yabangako ensonga emusanyusizza gy’annyonnyola, yaginnyonnyolanga mu ddoboozi ery’omwanguka ng’eno bw’akuba wansi. Mu kiseera kitono, twatandika okusoma emirundi ebiri buli wiiki era nga buli lwe tuba tusoma tumala essaawa bbiri!

ATANDIKA OKUGENDA MU NKUŊŊAANA N’OKUZEENYIGIRAMU

Kingsley ne Paul

Kingsley yali ayagala nnyo okutandika okugenda mu nkuŋŋaana naye ekyo tekyali kyangu. Yali yeetaaga okuyambibwa okutuula mu kagaali ke n’okumuggyamu, okumutuuza mu mmotoka n’okumuggyamu, okumuyingiza mu Kizimbe ky’Obwakabaka n’okumufulumya. Naye ab’oluganda bangi baali beetegefu okumuyamba era ekyo baakikolanga mu mpalo. Mu butuufu, baagitwalanga ng’enkizo okumuyamba. Enkuŋŋaana bwe zaabanga zigenda mu maaso, Kingsley yatuulanga kumpi n’omuzindaalo asobole okuwulira ebyogerwa!

Oluvannyuma lw’ekiseera, Kingsley yasalawo okuyingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Bwe waali wabula wiiki bbiri awe emboozi ye esooka, nnamubuuza obanga abadde yeegezaamu. Nga yeekakasa, yanziramu nti, “Yee, Ow’oluganda, nneegezezzaamu emirundi nga 30.” Nnamwebaza era ne musaba ansomeremu. Yabikkula Bayibuli ye eya bamuzibe, n’ateeka engalo ze we yali alina okusoma, n’atandika okusoma. Kyokka, nnakiraba nti engeri gye yali atambuzaamu engalo ze ku nnukuta eziri mu Bayibuli teyali ya bulijjo. Ekitundu kyonna kye yali alina okusoma yali akikutte mu mutwe!

Nnakwatibwako nnyo era ne nkulukusa amaziga. Nnabuuza Kingsley kisoboka kitya okuba nti yali akutte ebintu ebyo byonna ate nga yali yeegezezzaamu emirundi 30 gyokka. Yanziramu nti: “Nedda, mbadde nneegezaamu emirundi nga 30 buli lunaku.” Okumala omwezi mulamba, Kingsley yatuulanga ku kigoye kye n’asoma ekitundu ekyo emirundi n’emirundi okutuusa lwe yakikwata mu mutwe.

Kya ddaaki olunaku Kingsley lwe yalina okuwa emboozi ye lwatuuka. Bwe yamala okuwa emboozi ye, bonna abaaliwo baakuba nnyo mu ngalo. Olw’essanyu eringi, bangi ku bo baakulukusa amaziga. Omubuulizi omu eyali yalekera awo okuwa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda olw’okuba yali atya nnyo, yasaba addemu okuweebwa emboozi. Lwaki? Yagamba nti: “Bwe kiba nti Kingsley asobola okukikola, nange nsobola!”

Oluvannyuma lw’okumala emyaka esatu ng’ayiga Bayibuli, Kingsley yabatizibwa nga Ssebutemba 6, 2008. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa nga Maayi 13, 2014. Kingsley yali mukakafu nti mu nsi ya Katonda empya, ajja kweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa nga mulamu bulungi. (Is. 35:5, 6)—Byayogerwa Paul McManus.

^ lup. 4 Akatabo Okumanya kaafulumizibwa mu 1995; naye kati tekakyakubibwa.