OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2024 | Kiki Ekisobola Okukuyamba Okwawulawo Ekituufu n’Ekikyamu?

Yiga okusalawo mu ngeri enaakuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, awamu n’ab’omu maka go.

Ffenna Tulina Okusalawo ku Kituufu n’Ekikyamu

Kiki ekinaakuyamba okusalawo ku bikwata ku mitindo gy’empisa egy’okugoberera?

Kiki Abantu Kye Batera Okusinziirako Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu?

Tusobola okusalawo ekituufu n’ekikyamu nga tusinziira ku ndowooza yaffe oba ey’abalala. Naye waliwo ekintu ekyesigika ekisobola okutuyamba?

Tusobola Okwesiga Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu

Oyinza otya okuba omukakafu nti Bayibuli ewa obulagirizi obwesigika obukwata ku mpisa?

Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu Gasobola Okutuyamba

Weetegereze ebintu bina abantu bukadde na bukadde mwe bakirabidde nti obulagirizi obuli mu Bayibuli bukola era bwesigika.

Olina Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu

Bulagirizi bw’ani bw’oneesiga?

Wa w’Osobola Okufuna Obulagirizi Obwesigika Leero?

Bayibuli esobola okukuyamba okusalawo mu ngeri etaakuleetere kwejjusa.