Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Hulda Yatuuka ku Kiruubirirwa Kye

Hulda Yatuuka ku Kiruubirirwa Kye

BW’OBA nga wali okyaddeko ku kizinga ekitono ekiyitibwa Sangir Besar eky’omu Indonesia emyaka mitono emabega, oyinza okuba nga walabako ku bannyinaffe basatu ku lubalama lw’ennyanja. Bannyinnaffe abo bamanyiddwa nnyo ku kizinga ekyo olw’omulimu gw’okubuulira gwe bakola nga bayamba abantu okuyiga ebiri mu Bayibuli. Naye ku olwo oyinza okuba wabasanga bakola mulimu mulala.

Ekizinga Sangir Besar mu bukiikakkono bwa Indonesia

Bannyinaffe abo bagenda mu mazzi ne baggyayo amayinja amanene ne bagaleeta ku lubalama. Agamu ku mayinja ago gaba genkana ng’omupiira ogusambibwa. Bwe batuuka ku lubalama, bakozesa ennyondo okugakoonakoonaa ne bafunamu amayinja amatono. Bwe bamala bagasomba nga bakozesa obulobo ne bagatwala gye babeera. Oluvannyuma bateeka amayinja ago mu bukutiya obutikkibwa ku mmotoka ne gatwalibwa okukozesebwa mu kukola enguudo.

Hulda, ng’alonda amayinja ku lubalama lw’ennyanja

Omu ku bannyinnaffe abo ye Hulda. Embeera yali emusobozesa okumala ebiseera bingi ng’akola omulimu ogwo okusinga ku banne. Ssente ze yafunanga mu mulimu ogwo yazikozesanga okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge ebya buli lunaku. Naye ku mulundi guno yalina ekiruubirirwa kirala. Yali ayagala kusonda ssente ez’okugula tabbuleeti asobole okukozesa JW Library®. Hulda yali ekimanyi nti vidiyo n’ebintu ebirala ebiri ku JW Library® byandimuyambye nnyo ng’akola omulimu gw’okubuulira era nga yeesomesa, okusobola okutegeera Bayibuli.

Hulda yakolanga okumala essaawa bbiri buli ku makya okumala omwezi gumu n’ekitundu. Yakoona amayinja mangi nga gajjuza emmotoka eyeetikka emigugu. Amayinja ago yagafunamu ssente ezimala okugula tabbuleeti.

Hulda ng’akutte tabbuleeti ye

Hulda yagamba nti: “Wadde ng’okukoona amayinja ago kyankooyanga nnyo era kyandeetera n’amabavu mu ngalo, nneerabira mangu obulumi obwo kubanga tabbuleeti eyo yannyamba nnyo nga nkola omulimu gw’okubuulira, era kyannanguyiranga okutegeka enkuŋŋaana.” Ate era yagamba nti tabbuleeti eyo yamuyamba nnyo gy’ekirwadde kya COVID-19 kitandise, kubanga enkuŋŋaana zonna nga mw’otwalidde n’ez’okubuulira zaabanga ku zoom. Tuli basanyufu okuba nti mwannyinaffe Hulda yatuuka ku kiruubirirwa kye.