Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensumbi ey’Edda Eriko Erinnya Eriri mu Bayibuli

Ensumbi ey’Edda Eriko Erinnya Eriri mu Bayibuli

Ebipapajjo by’ensumbi eyakolebwa emyaka nga 3,000 emabega eyazuulibwa mu 2012, byacamula nnyo abanoonyereza ku bintu eby’edda. Kiki ekyabeewuunyisa? Ebipapajjo by’ensumbi eyo si bye byabeewuunyisa wabula ebigambo ebyabiriko.

Abanoonyereza ku bintu eby’edda bwe baagattagatta ebipapajjo ebyo ne bivaamu ensumbi, beewuunya nnyo ebigambo ebyaliko. Byali bigamba nti: “Esubbaali Beni [omwana wa] Beda’.” Guno gwe mulundi ogwasooka abanoonyereza ku bintu eby’edda okuzuula erinnya eryo nga liwandiikiddwa ku bintu eby’edda.

Waliwo ne Esubbaali omulala ayogerwako mu Bayibuli, ng’ono yali omu ku baana ba Kabaka Sawulo. (1 Byom. 8:33; 9:39) Profesa Yosef Garfinkel, omu ku abo abaazuula ensumbi eyo agamba nti: “Kyewuunyisa okuba nti erinnya Esubbaali eriri mu Bayibuli lisangiddwa ne ku kintu eky’edda ekyakolebwa mu kiseera kya Kabaka Dawudi.” Abamu bagamba nti erinnya eryo lyakozesebwa mu kiseera ekyo kyokka. Ekyo abanoonyereza ku bintu eby’edda kye baazuula kyongera okuwa obukakafu ku ebyo ebiri mu Bayibuli.

Mu nnyiriri endala eza Bayibuli erinnya Esubbaali era liwandiikibwa nga Isu-bosesi, nga mu kifo ky’ekigambo “bbaali” bakozesa ekigambo “bosesi.” (2 Sam. 2:10) Lwaki? Abanoonyereza bagamba nti: “Kirabika mu kitabo kya Samwiri eky’Okubiri tebaayagala kukozesa linnya Esubbaali olw’okuba lyali libajjukiza Bbaali, katonda w’Abakanani ow’enkuba, naye ng’erinnya eryo . . . lisangibwa mu Kitabo ky’Ebyomumirembe.”