Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ggaali lya ngeri ki Omwesiyopiya lye yali atambuliramu Firipo we yamusangira?

EKIGAMBO ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “eggaali” mu Enkyusa ey’Ensi Empya, kiyinza okutegeeza erimu ku bika by’amagaali agaakozesebwanga mu kiseera ekyo. (Bik. 8:​28, 29, 38) Kyokka kirabika eggaali Omwesiyopiya lye yali atambuliramu lyali ddene okusinga magaali agaakozesebwanga mu ntalo oba mu mpaka z’okuvuga amagaali. Lowooza ku nsonga zino wammanga.

Omwesiyopiya yali mukungu eyali atambudde olugendo oluwanvu. Omusajja oyo yali ‘mukungu wa Kandake kabaka omukazi owa Esiyopiya, era yali muwanika w’eby’obugagga bye byonna.’ (Bik. 8:27) Esiyopiya ey’edda yali nnene ddala ng’ezingiramu ensi leero eyitibwa Sudani n’ekitundu eky’ebukiikaddyo eky’ensi eyitibwa Misiri. Wadde ng’omusajja oyo kirabika teyatambulira mu ggaali lye limu olugendo olwo lwonna, ateekwa okuba nga yalina emigugu kubanga lwali luwanvu nnyo. Agamu ku magaali agaakozesebwanga okutambuza abantu mu kyasa ekyasooka gaabanga ga mipiira ena era nga galiko ekibikka waggulu. Ekitabo ekiyitibwa Acts​—An Exegetical Commentary kigamba nti: “Amagaali ng’ago gaabanga gasobola okutikka emigugu egiwera, gaabanga malungi okutambuliramu, era oboolyawo gaasobozesanga omuntu okutambula olugendo oluwanvu ddala.”

Omwesiyopiya yali ali mu kusoma Firipo we yamusangira. Bayibuli egamba nti: “Firipo n’adduka n’atuuka okumpi n’eggaali [n’awulira omulaawe] ng’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika.” (Bik. 8:30) Amagaali agaatambuzanga abantu gaalinga gatambula mpola. Olw’okuba eggaali omulaawe lye yalimu lyali litambula mpola, kyamusobozesa okusoma era ne Firipo okuligoba n’alisanga.

Omwesiyopiya “yeegayirira Firipo alinnye eggaali atuule naye.” (Bik. 8:31) Eggaali eryakozesebwanga mu mpaka z’amagaali, omuvuzi waalyo yabanga ayimiridde. Naye eggaali eryatambuzanga abantu lyabanga ggazi ne kiba nti omulaawe ne Firipo baali basobola okulituulamu.

Okusinziira ku ebyo ebiri mu Ebikolwa essuula 8 n’obukakafu okuva mu byafaayo, kati ebitabo byaffe biraga ng’Omwesiyopiya omulaawe atambulira mu ggaali eddeneko okusinga amagaali g’olutalo oba ago agaakozesebwanga mu mpaka z’amagaali.