Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Bangi balowooza nti omuntu bw’abeera omuyivu era omugagga ebiseera bye eby’omu maaso biba bijja kuba birungi. Balowooza nti okufuna obuyigirize obwa waggulu kiyamba omuntu okuba omukozi omulungi, okulabirira obulungi ab’omu maka, n’okuba ow’omugaso mu kitundu. Era bangi balowooza nti omuntu bw’afuna obuyigirize obwa waggulu, afuna omulimu ogumusasula ssente nnyingi ne kimuyamba okuba omusanyufu.

BANGI KYE BASALAWO OKUKOLA

Lowooza ku bigambo ebyayogerwa Zhang Chen, abeera mu China. Agamba nti, “Nnali ndowooza nti bwe ŋŋenda ku yunivasite ne nfuna diguli kijja kunnyamba okweggya mu bwavu, era nti bwe nfuna omulimu ogusasula ssente ennyingi kijja kunnyamba okuba omusanyufu n’okuba omumativu.”

Olw’okuba balowooza nti obuyigirize obwa waggulu bujja kubayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, bangi batuuka n’okugenda ku yunivasite ezimanyiddwa ennyo eziri mu mawanga amalala. Ekyo kyali kicaase nnyo okutuusa ekirwadde kya COVID-19 lwe kyakifuula ekizibu okugenda mu mawanga amalala. Lipoota eyafulumizibwa ekitongole ekimu mu 2012 yagamba nti: “Abaana abava mu ssemazinga wa Asiya baali bakola ebitundu 52 ku buli kikumi eby’abaana bonna abasomera mu mawanga g’ebweru.”

Abazadde bakola nnyo basobole okutwala abaana baabwe mu yunivasite ez’omu mawanga g’ebweru. Qixiang, abeera mu Taiwan, agamba nti: “Bazadde bange tebaali bulungi nnyo mu bya nfuna naye baatutwala ffenna abana okusomera mu Amerika.” Okusobola okusasula ebisale by’essomero, abazadde abo, okufaananako abazadde abalala, baalina okwewola ssente nnyingi.

BIKI EBIVUDDEMU?

Bangi abaluubirira obuyigirize obwa waggulu n’eby’obugagga tebafuna ebyo bye baba basuubira

Obuyigirize busobola okuyamba omuntu mu ngeri ezitali zimu, naye tebuyamba abo ababunoonya okufuna ebyo byonna bye baba basuubira. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’emyaka mingi nga bakola nnyo era n’okugwa mu mabanja basobole okufuna obuyigirize obwa waggulu, bangi tebafuna mulimu gwe baasomerera. Lipoota eyawandiikibwa Rachel Mui mu lupapula lw’amawulire olw’omu Singapore oluyitibwa Business Times, yagamba nti: “Abamaze emisomo ne batafuna mirimu beeyongedde nnyo.” Jianjie, abeera mu Taiwan alina diguli eziwerako agamba nti, “Bangi baba tebalina kya kukola wabula okukola omulimu gwonna wadde nga si gwe baasomerera.”

Abo abafuna omulimu gwe baasomerera nabo oluusi ebintu tebibagendera nga bwe baba basuubira. Niran, bwe yamaliriza emisomo gye mu yunivasite emu mu Bungereza, yaddayo mu nsi ye mu Thailand, era n’afuna omulimu gwe yasomerera. Agamba nti: “Nga bwe nnali nsuubira, diguli gye nnafuna yansobozesa okufuna omulimu ogwali gusasula ssente ennyingi. Kyokka, ekyo kyanneetaagisa okumala essaawa nnyingi nga nkola. Oluvannyuma kampuni gye nnali nkolera yasalako abakozi baayo abasinga obungi, era nange mwe nnagendera. Nnakitegeera nti tewali mulimu guyinza kuyamba muntu kuba mukakafu nti ebiseera bye eby’omu maaso bijja kuba birungi.”

N’abantu abagagga era abali mu bulamu abalala bwe bayita obulungi, bafuna ebizibu mu maka, balwala, era tebaba bamativu na ssente ze balina. Katsutoshi, abeera mu Japan, agamba nti, “Nnalina eby’obugagga bingi, naye era saali musanyufu kubanga abalala bankwatirwanga obuggya era bampisanga bubi.” Omukazi ayitibwa Lam, abeera mu Vietnam, agamba nti, “Ndaba ng’abantu bangi bafuba nnyo okufuna omulimu ogunaabasasula ssente ennyingi nga balowooza nti zijja kubayamba okuba abasanyufu, naye ekituufu kiri nti beeyongera okweraliikirira n’okwennyamira.”

Okufaananako Franklin, bangi bakizudde nti okufuna obuyigirize obwa waggulu n’eby’obugagga si bye biyamba omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Mu kifo ky’okunoonya eby’obugagga abamu bafuba okweyisa obulungi n’okukolera abalala ebirungi, nga basuubira nti ebyo bye bijja okubayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Naye ddala ebyo bisobola okuyamba omuntu okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.