Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’Ani?

Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’Ani?

Katonda yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli abawerako okuwandiika ebyandituyambye okumanya oyo eyandibadde Kabaka w’Obwakabaka bwe. Kabaka oyo yandibadde

  • Alondebwa Katonda. “Nze kennyini ntaddewo kabaka wange . . . Ndimuwa amawanga okuba obusika bwe n’ensi yonna okuba eyiye.”​—Zabbuli 2:6, 8.

  • Musika wa Kabaka Dawudi. “Omwana atuzaaliddwa, omwana ow’obulenzi atuweereddwa . . . Obufuzi bwe n’emirembe tebirikoma kweyongerayongera, ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe okusobola okubunyweza.”​—Isaaya 9:6, 7.

  • Azaalibwa mu Besirekemu. “Ggwe Besirekemu . . . , mu ggwe mwe muliva omufuzi . . . Obuyinza bwe bulituuka ensi gy’ekoma.”​—Mikka 5:2, 4.

  • Akyayibwa abantu era n’attibwa. “Yanyoomebwa era tetwamulabamu ka buntu. . . . Yafumitibwa olw’ebyonoono byaffe; yabonyaabonyezebwa olw’ensobi zaffe.”​—Isaaya 53:3, 5.

  • Azuukizibwa era n’agulumizibwa. “Tolindeka magombe. Tolireka mwesigwa wo kulaba kinnya. . . . Ku mukono gwo ogwa ddyo waliwo essanyu emirembe n’emirembe.”​—Zabbuli 16:10, 11.

Yesu Kristo y’Agwanidde Okufuga

Mu byafaayo byonna, omuntu omu yekka ye yatuukiriza ebintu ebyo byonna, era omuntu oyo ye Yesu Kristo. Mu butuufu, malayika yagamba Maliyamu maama wa Yesu nti: “Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, . . . era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”​—Lukka 1:31-33.

Yesu teyafuuka mufuzi ng’akyali ku nsi. Wabula, ajja kufuga abantu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda ng’asinziira mu ggulu. Lwaki Yesu ajja kuba mufuzi mulungi? Lowooza ku bintu bino bye yakola ng’akyali ku nsi.

  • Yesu yafangayo ku bantu. Yesu yayambanga abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, wadde nga baali mu mbeera za njawulo. (Matayo 9:36; Makko 10:16) Omugenge bwe yeegayirira Yesu nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu,” Yesu yamusaasira era n’amuwonya.​—Makko 1:40-42.

  • Yesu yatuyigiriza bye tusaanidde okukola okusobola okusanyusa Katonda. Yagamba nti: “Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.” Ate era yagamba nti tusaanidde okuyisa abalala nga naffe bwe twandyagadde batuyise. Okugatta ku ekyo, yayigiriza nti Katonda takoma ku kufaayo ku ebyo bye tukola, naye era afaayo ne ku ndowooza yaffe n’enneewulira yaffe. N’olwekyo, okusobola okusanyusa Katonda, tulina okufaayo ku ebyo bye tulowoozaako. (Matayo 5:28; 6:24; 7:12) Yesu yayigiriza nti bwe tuba twagala okuba abasanyufu, tulina okumanya ebyo Katonda by’ayagala tukole era ne tubikola.​—Lukka 11:28.

  • Yesu yayigiriza kye kitegeeza okulaga abalala okwagala. Ebigambo Yesu bye yayogera era n’ebyo bye yakola byakwatanga ku mitima gy’abo abaabanga bamuwuliriza. Bayibuli egamba nti: ‘Ekibiina ky’abantu kyawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu, kubanga yali abayigiriza ng’omuntu alina obuyinza.’ (Matayo 7:28, 29) Yabayigiriza nti: ‘Mwagalenga abalabe bammwe.’ N’abo abaali bagenda okumutta yabasabira nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.”​—Matayo 5:44; Lukka 23:34.

Yesu y’agwanidde okuba omufuzi w’ensi kubanga ayagala nnyo abantu era wa kisa. Naye anaatandika ddi okufuga ensi?