Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nkusaba Ompe Omwaka Gumu Gwokka ogw’Emirembe n’Essanyu

Nkusaba Ompe Omwaka Gumu Gwokka ogw’Emirembe n’Essanyu
  • NNAZAALIBWA: 1971

  • ENSI: BUFALANSA

  • EBYAFAAYO: NNALI MUSEEGU, ERA NNAKOZESANGA EBIRAGALALAGALA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnakulira mu kyalo ekiyitibwa Tellancourt, ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Bufalansa. Taata yali Mufalansa, ate maama Muyitale. Nga nnina emyaka munaana, twasengukira mu kitundu ekiri ku njegoyego z’ekibuga Rooma, ekya Yitale. Nga tuli eyo, obulamu tebwali bwangu. Eby’enfuna byali bizibu nnyo, era kyaviirangako bazadde bange okuyomba olutata.

Bwe nnaweza emyaka 15, maama yankubiriza okufuna emikwano. Okuva olwo, nnatandika okuvanga awaka, era ng’oluusi mmala ekiseera kiwanvu nga sikomyewo waka. Saalwa, nga nfuna emikwano emibi. Lumu waliwo omusajja eyajja gye ndi ng’alabika ng’omuntumulamu. Yampa ebiragalalagala ne mbikkiriza kubanga nnali njagala okulaga nti nange nkuze. Bwe ntyo ne ntandika okukozesa ebiragalalagala n’okwenyigira mu bikolwa eby’obuseegu. Bankabawaza emirundi mingi. Nnawulira nga nneetamiddwa obulamu, era nnabanga mwennyamivu nnyo. Nga nnina emyaka 16, nnagezaako okwetta; nnanywa omwenge ne ntamiira ne nneesuula mu nnyanja, era nammala ennaku ssatu nga nzirise.

Nnatandika okussa ekitiibwa mu bulamu; kyokka nnali mukambwe nnyo era nga ndi mukujjukujju. Bwe nnagendanga mu maka g’omuntu okwegatta naye, nnamuwanga ebiragalalagala ne bimuwunza ne mmubbako ekintu kyonna eky’omuwendo kye yabanga nakyo. Abamenyi b’amateeka bankozesanga okukukusa ebiragalalagala mu Yitale mwonna. Nnabanga n’emisango mingi ku poliisi. Wadde nga nnali nkimanyi nti wateekwa okubaawo ensonga lwaki wendi, nnalaba ng’obulamu bwange si bwa makulu. Nnasaba Katonda ampe omwaka gumu gwokka ogw’emirembe n’essanyu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Bwe nnaweza emyaka 24, nnasalawo okusengukira e Bungereza. Naye olw’okuba nnali nkolagana n’abantu abakukusa ebiragalalagala, obulamu bwange bwali mu kabi. Nga sinnagenda Bungereza, nnasooka kukyalira maama. Kyannewuunyisa nnyo okusanga Annunziato Lugarà ng’aliko by’annyonnyola maama ebikwata ku Bayibuli. * Olw’okuba nnali nkimanyi bulungi nti omusajja oyo mumenyi w’amateeka, nnatya nnyo era ne mmubuuza ekyali kimuleese. Yaŋŋamba nti yali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa era n’ambuulira enkyukakyuka ze yali akoze mu bulamu bwe. Yankuutira okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa nga ntuuse e Bungereza era ne nzikiriza okukola kye yaŋŋamba. Naye bwe nnatuukayo, nnaddamu okwenyigira mu bikolwa ebibi bye nnali nkola.

Lumu nnasanga Omujulirwa wa Yakuwa ku luguudo olumu olw’omu kibuga London ng’agaba obutabo. Nnajjukira kye nnasuubiza Annunziato, era ne nsaba Omujulirwa wa Yakuwa oyo anjigirize Bayibuli.

Bye nnayiga mu Bayibuli byannewuunyisa nnyo. Ng’ekyokulabirako, 1 Yokaana 1:9 wagamba nti: “Bwe twatula ebibi byaffe, Katonda mwesigwa era mutuukirivu, ajja kutusonyiwa ebibi byaffe era atunaazeeko obutali butuukirivu bwonna.” Olunyiriri olwo lwanzizaamu nnyo amaanyi kubanga nnali mpulira nga ndi mucaafu nnyo olw’ebintu ebibi bye nnakolanga. Nnatandikirawo okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ezibeera mu Kingdom Hall. Abajulirwa ba Yakuwa bannyaniriza n’essanyu. Bwe nnalaba engeri gye baali baagalanamu, nneegomba okubeera omu ku bo.

Wadde nga tekyanzibuwalira nnyo kulekera awo kukozesa biragalalagala n’okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obuseegu, kyanzibuwalira nnyo okukyusa endowooza yange. Nnali nneetaaga okuyiga okuwa abalala ekitiibwa n’okubafaako. Mu butuufu, nkyalina obuyisayisa bwe nnwanyisa. Naye olw’okuba Yakuwa annyamba, ŋŋenda nkola enkyukakyuka ezeetaagisa. Oluvannyuma lw’okusoma Bayibuli okumala emyezi mukaaga, nnabatizibwa mu 1997 ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Bwe nnamala okubatizibwa, nnawasa Barbara naye eyali yaakafuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Omu ku mikwano gyange bwe yalaba enkyukakyuka ze nnali nkoze mu bulamu bwange, naye yatandika okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera, ye ne mwannyina baafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Ate era ne jjajja wange eyali asussa emyaka 80 egy’obukulu, naye yatandika okuyiga Bayibuli era we yafiira yali amaze okubatizibwa.

Kati mpeereza ng’omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa, era nze ne mukyala wange tuli babuulizi ab’ekiseera kyonna. Tuyamba abantu aboogera Oluyitale ababeera mu London, okuyiga Bayibuli. Ebiseera ebimu, mpulira bubi bwe ndowooza ndowooza ku ngeri gye nneeyisangamu, naye mukyala wange anzizaamu nnyo amaanyi. Nze ne mukyala wange tuli basanyufu, era nkimanyi nti Katonda anjagala nnyo. Nnamusaba ampe omwaka gumu gwokka ogw’essanyu n’emirembe, naye ampadde n’ebirala bingi nnyo!

Kati nze ne mukyala wange tuli basanyufu, era nkimanyi nti Katonda anjagala nnyo

^ lup. 10 Laba ebikwata ku Annunziato Lugarà mu kitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu​—Nnatambulanga n’Emmundu Yange,” ekyafulumira mu katabo Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2014, olupapula 8-9.