Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?

Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?

Olowooza . . .

  • kwagala?

  • ssente?

  • kintu kirala?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”​—Lukka 11:28, Enkyusa ey’Ensi Empya.

OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO

Okuba n’okwagala okwa nnamaddala.​—Abeefeso 5:28, 29.

Okussiŋŋanamu ekitiibwa.​—Abeefeso 5:33.

Okuba obumu.​—Makko 10:6-9.

TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA

Lwa nsonga nga bbiri:

  • Katonda ye yatandikawo amaka. Bayibuli eraga nti Katonda ye yassaawo enteekateeka y’amaka. (Olubereberye 2:18-24) Lwaki ekyo kikulu okukimanya?

    Lowooza ku kino: Bw’olya emmere ewooma n’oyagala okumanya ebirungo bye bakozesezza, ani gwe wandibuuzizza? Awatali kubuusabuusa, obuuza oyo eyagifumbye.

    Mu ngeri y’emu, okusobola okumanya ebyo ebisobozesa amaka okubaamu essanyu, tusaanidde okwebuuza ku oyo yennyini eyatandikawo enteekateeka y’amaka.​—Olubereberye 2:18-24.

  • Katonda akufaako. Kiba kya magezi ab’omu maka okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’abawa okuyitira mu Kigambo kye. Lwaki? “Kubanga abafaako.” (1 Peetero 5:6, 7) Yakuwa abaagaliza ssanyu—era amagezi g’abawa ga muganyulo nnyo!​—Engero 3:5, 6; Isaaya 48:17, 18.

KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO

Oyinza otya okuba omwami omulungi, omukyala omulungi, oba omuzadde omulungi?

Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ABEEFESO 5:1, 2 ne ABAKKOLOSAAYI 3:18-21.