Buuka ogende ku bubaka obulimu

Obulagirizi Obukwata ku Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo

Obulagirizi Obukwata ku Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo

Ebirimu

1. Obulagirizi obuli mu kiwandiiko kino bujja kuyamba abo bonna abanaabanga n’ebitundu mu lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe. Abo ababa n’ebitundu basaanidde okwejjukanya obulagirizi obukwata ku kitundu kye baba baweereddwa obuba mu katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe, awamu n’obulagirizi obuli mu kiwandiiko kino, nga tebannaba kutegeka bitundu byabwe. Ababuulizi bonna bakubirizibwa okubangawo mu nkuŋŋaana okuwa ebitundu byabwe ebiba bibaweereddwa. N’abalala ababaawo mu nkuŋŋaana era abazeenyigiramu, bayinza okuweebwa ebitundu singa baba bakkiriza enjigiriza za Bayibuli, era nga n’engeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe etuukana n’emitindo gy’Ekikristaayo. Omulabirizi w’olukuŋŋaana lw’obulamu bw’Ekikristaayo asaanidde okubuulira oyo atali mubuulizi ayagala okuyingira essomero ebisaanyizo by’alina okutuukiriza okusobola okuyingira essomero, era oluvannyuma amubuulire obanga abituukiriza. Ekyo asaanidde okukikola nga waliwo oyo amuyigiriza Bayibuli (bw’aba mwana, nga waliwo muzadde we Omukristaayo). Ebisaanyizo by’alina okutuukiriza bye bimu n’ebyo abo ababa baagala okufuuka ababuulizi abatali babatize bye balina okutuukiriza.—od sul. 8 kat. 8.

 ENNYANJULA

2. Ddakiika emu. Buli wiiki, oluvannyuma lw’oluyimba n’okusaba, ssentebe w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo ajja kwogeranga ku ebyo ebigenda okuba mu lukuŋŋaana, aleetere abawuliriza okwesunga bye bagenda okuyiga. Essira asaanidde okulissa ku nsonga ezinaasinga okuganyula ab’oluganda mu kibiina.

  EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

 3Okwogera: Ddakiika 10. Omutwe ogw’okwogerako, n’ensonga enkulu bbiri oba ssatu bijja kulagibwanga mu katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe. Okwogera kuno kujja kuweebwanga omukadde oba omuweereza atuukiriza ebisaanyizo. Bwe tunaabanga tutandika okusoma ekitabo ekipya ekya Bayibuli mu kusoma Bayibuli okwa wiiki, tujja kulabanga vidiyo eyanjula ekitabo ekyo. Omwogezi ayinza okwogera ku ngeri ebyo ebiri mu vidiyo gye bikwataganamu n’omutwe gw’ayogerako. Kyokka asaanidde kwogera ku nsonga eziri wansi w’omutwe gw’ayogerako mu katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo. Obudde bwe bubaawo, asaanidde okukozesa ebifaananyi ebiweereddwa. Ayinza n’okukozesa eby’okunoonyereza ebirala bwe biba nga bikwatagana n’ensonga eziweereddwa.

 4Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: Ddakiika 10. Ekitundu kino kya kubuuza bibuuzo na kuddamu era kya kukubirizibwa omukadde oba omuweereza atuukiriza ebisaanyizo. Tasaanidde kuwa nnyanjula oba kufundikira. Asaanidde okubuuza ebibuuzo byombi. Ate era, ayinza okusalawo obanga ebyawandiikibwa byonna ebiweereddwa binaasomebwa oba nedda. Abo ababa balondeddwa okuddamu basaanidde okukozesa obutikitiki 30 oba obutawera.

 5Okusoma Bayibuli: Ddakiika 4. Ekitundu kino kya kuweebwanga wa luganda. Asaanidde kusoma butereevu ebyo ebimuweereddwa, awatali kuwa nnyanjula oba kufundikira. Ssentebe w’olukuŋŋaana asaanidde okufaayo okuyamba abayizi okusoma mu ngeri etegeerekeka obulungi, nga tebasikattira, nga baggumiza we kyetaagisa, nga bakyusakyusa mu ddoboozi, nga basiriikiriramu we kisaanira, era nga boogera mu ngeri eya bulijjo. Olw’okuba ebitundu ebimu eby’okusoma Bayibuli biwanvu ate ng’ebirala bimpi, omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekiristaayo n’Obuweereza Bwaffe asaanidde okulowooza ku busobozi bwa buli muyizi gw’agenda okuwa ekitundu ekyo.

 BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

6. Ddakiika 15. Ekitundu kino kitegekeddwa okuwa bonna akakisa okweteekerateekera obuweereza, era n’okulongoosa mu ngeri gye banyumyamu n’abantu mu buweereza, gye babuuliramu, ne gye bayigirizaamu. Bwe kiba kyetaagisa, abakadde nabo basobola okuweebwa ebitundu. Buli mubuulizi asaanidde okukola ku ssomo eriba limuweereddwa okuva mu katabo Okuyigiriza oba mu katabo Yoleka Okwagala eriba liragiddwa mu bukomera ku kitundu ky’aba agenda okukolako mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe. Emirundi egimu wajja kubaawo ekitundu nga kya kukubaganya birowoozo. Ekitundu ekyo kirina kuweebwa mukadde oba omuweereza atuukiriza ebisaanyizo.—Okumanya engeri ebitundu ebirimu okubuuza ebibuuzo gye bisaanidde okukubirizibwa, laba  akatundu 15.

 7Okutandika Okunyumya n’Abantu Ekitundu kino kijja kuweebwanga ow’oluganda oba mwannyinaffe. Oyo amuyambako asaanidde okuba nga bafaanaganya ekikula oba nga ba mu maka gamu. Basobola okutuula oba okuyimirira.—Okumanya ebisingawo ebikwata ku kitundu kino laba  akatundu 12 ne  13.

 8Weeyongere Okuyamba Abantu: Ekitundu kino kiyinza okuweebwa ow’oluganda oba mwannyinaffe. Oyo amuyambako asaanidde okuba nga bafaanaganya ekikula. (km-E 5/97 lup. 2) Bayinza okutuula oba okuyimirira. Asaanidde okulaga ekyokulabirako ng’addiŋŋana omuntu gwe yabuulira.—Okumanya ebisingawo ebikwata ku kitundu kino, laba  akatundu 12 ne  13.

 9Okufuula Abantu Abayigirizwa: Ekitundu kino kiyinza okuweebwa ow’oluganda oba mwannyinaffe. Oyo amuyambako asaanidde okuba nga bafaanaganya ekikula. (km-E 5/97 lup. 2) Bayinza okutuula oba okuyimirira. Omubuulizi asaanidde okulaga nti yatandise dda okuyigiriza omuntu Bayibuli. Tekimwetaagisa kuwa nnyanjula oba kufundikira okuggyako ng’ekyo kye baamuwadde okukolako. Ate era tekyetaagisa kusoma butundu bwonna, wadde ng’oluusi ekyo kiyinza okukolebwa.

 10Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu: Ekitundu kino bwe kuba nga kwogera, kisaanidde kuweebwa wa luganda. Bwe kiba nga kyakulabirako, kiyinza okuweebwa ow’oluganda oba mwannyinaffe. Oyo amuyambako asaanidde okuba nga bafaanaganya ekikula oba nga ba mu maka gamu. Oyo aweereddwa ekitundu kino asaanidde okuddamu ekibuuzo ekiweereddwa mu ngeri ey’amagezi era etegeerekeka obulungi, ng’akozesa eby’okunoonyereza ebiweereddwa. Ayinza okukozesa eby’okunoonyereza ebiweereddwa oba obutabikozesa.

 11Okwogera: Ekitundu kino kisaanidde kukubirizibwa wa luganda era kisaanidde okuweebwa ng’okwogera eri bonna. Bwe kiba nga kyesigamiziddwa ku nsonga emu eri mu byongerezeddako A mu katabo Yoleka Okwagala, oyo aweereddwa ekitundu ekyo asaanidde okulaga engeri ebyawandiikibwa ebiweereddwa gye bisobola okukozesebwa mu kubuulira. Ng’ekyokulabirako, asobola okulaga ddi ekyawandiikibwa lwe kiyinza okukozesebwa, amakulu agakirimu, n’engeri gye kiyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo n’omuntu. Okwogera bwe kuba nga kwesigamiziddwa ku katundu akamu mu limu ku masomo agali mu katabo Yoleka Okwagala, oyo awa okwogera essira asaanidde okulissa ku ngeri ebyo ebiri mu katundu ako gye biyinza okukozesebwa mu kubuulira. Ayinza okukozesa ekyokulabirako ekiri mu katundu akasooka mu ssomo oba okwogera ku kyawandiikibwa kyonna ekiri mu ssomo.

   12Eky’Okukola: Ebiri mu katundu kano n’akaddako bikwata ku kitundu “Okutandika Okunyumya n’Abantu” ne “Weeyongere Okuyamba Abantu.” Okuggyako nga kiragiddwa, oyo aweereddwa ekimu ku bitundu ebyo, asaanidde okubuulira omuntu ku kintu ekimu ekiri mu Bayibuli ekinaamukwatako era n’okulekawo kye banaayogerako omulundi ogujja. Ate era asaanidde okukozesa ennyanjula etuukirawo era enaakwata ku bantu b’omu kitundu. Ayinza okusalawo okumulekera oba obutamulekera kya kusoma, oba okumulaga vidiyo oba obutagimulaga. Mu kifo ky’okukozesa ennyanjula gye yakwata obukusu, asaanidde okumanya engeri gy’ayinza okunyumya obulungi n’abantu. Ng’ekyokulabirako, ng’afaayo ku bantu era ng’ayogera mu ngeri eya bulijjo.

   13Enkola ez’okubuulira: Oyo aweereddwa ekitundu asaanidde okukozesa enkola ey’okubuulira emuweereddwa mu ngeri etuukana n’embeera y’omu kitundu. Ng’ekyokulabirako:

  1.  (1) Nnyumba ku Nnyumba: Enkola eno ezingiramu okugenda nnyumba ku nnyumba ng’obuulira, oba ng’okozesa ssimu, oba ng’okozesa amabaluwa. Ate era ezingiramu n’okuddayo eri oyo eyalaga okusiima ng’obuulira nnyumba ku nnyumba.

  2.  (2) Okubuulira Embagirawo: Mu nkola eno bwe tuba tunyumya n’abantu, tukozesa akakisa konna ke tufuna okubawa obujulirwa. Enkola eno eyinza okuzingiramu okubuulira abo be tukola nabo, be tusoma nabo, baliraanwa baffe, be tuba nabo mu ntambula eza lukale, n’abalala bonna be tusanga.

  3.  (3) Okubuulira mu Bifo Ebya Lukale: Enkola eno eyinza okuzingiramu okubuulira ku kagaali, mu bifo awakolerwa bizineesi, ku nguudo, mu bifo awawummulirwa, awasimba ebidduka, oba wonna we tusobola okusanga abantu.

 14Okukozesa Vidiyo n’Ebitabo: Oyo aweereddwa ekitundu ayinza okusalawo okukozesa vidiyo oba okugaba ekitabo okusinziira ku mbeera. Ekitundu ekimuweereddwa bwe kibaamu okulaba vidiyo, oba ye kennyini bw’asalawo okugikozesa, asaanidde okujanjula n’okugikubaganyaako ebirowoozo n’oyo gw’abuulira, naye tasaanidde kugimulaga.

  OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

15. Oluvannyuma lw’okuyimba, eddakiika 15 eziddirira zijja kubangamu ekitundu kimu oba bibiri ebitegekeddwa okuyamba abawuliriza okussa mu nkola ebyo bye bayiga mu Kigambo kya Katonda. Okuggyako nga kiragiddwa, ebitundu bino bisaanidde kuweebwanga bakadde oba abaweereza abalina ebisaanyizo, naye ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina kirina kuweebwanga bakadde bokka. Ekitundu bwe kiba nga kya kukubaganya birowoozo, oyo akikubiriza ayinza n’okukozesa ebibuuzo ebirala okugatta ku ebyo ebiweereddwa. Tasaanidde kukozesa bigambo bingi ng’ayanjula ekitundu ekyo, kimusobozese okuba n’obudde obumala okuggyayo ensonga enkulu, n’abawuliriza okukyenyigiramu. Singa ekitundu kibaamu okubuuza omuntu ebibuuzo, oyo agenda okubuuzibwa asaanidde okugenda ku siteegi bwe kiba nga kisoboka, mu kifo ky’okusigala w’aba atudde.

  16Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: Ddakiika 30. Ekitundu kino kisaanidde kuweebwa abakadde abalina ebisaanyizo. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, n’abaweereza abalina ebisaanyizo basobola okukozesebwa.) Akakiiko k’abakadde ke kasaanidde okulonda abo abatuukiriza ebisaanyizo by’okukubiriza ekitundu kino. Abo abalondeddwa basaanidde okuba nga basobola okukubiriza obulungi ne bakuuma obudde, okuggumiza ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga, n’okuyamba buli omu okulaba engeri gy’ayinza okukolera ku ebyo by’ayize. Abo abalondeddwa bajja kuganyulwa nnyo bwe banaasoma obulagirizi obukwata ku ngeri y’okukubirizaamu ekitundu ekirimu okubuuza ebibuuzo. (w23.04 lup. 24, akasanduuko) Ebirina okusomebwa wiiki eyo bwe biba nga bivuddeyo bulungi, tekyetaagisa kumalayo ddakiika zonna. Bwe kiba kisoboka, buli wiiki abo abakubiriza n’abasoma obutundu basaanidde okuba ab’enjawulo. Ssentebe w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo bw’asaba nti ekitundu kifunzibweko, oyo akubiriza y’alina okusalawo engeri gy’anaakikolamu. Ayinza okusalawo obutundu obumu ne butasomebwa.

  OKUFUNDIKIRA

17. Ddakiika 3. Ssentebe w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo ajja kwogeranga ku ensonga enkulu ezibadde mu lukuŋŋaana. Ate era asaanidde okwogera ku ebyo ebinaaba mu lukuŋŋaana lwa wiiki eddako. Obudde bwe bubaawo, ayinza okusoma amannya g’abo abalina ebitundu wiiki eddako. Okuggyako nga kiragiddwa, bwe wabaawo ekirango kyonna oba ebbaluwa ey’okusoma, ssentebe y’alina okugisoma ng’afundikira olukuŋŋaana. Enteekateeka z’ekibiina, gamba ng’enteekateeka y’okubuulira, n’ey’okulongoosa, tebirina kusomebwa ku pulatifoomu, wabula bisaanidde kuteekebwa awatimbibwa amabaluwa. Bwe kiba nti eddakiika z’alina okukozesa ng’afundikira tezimumala kusomeramu birango oba amabaluwa, asaanidde okusaba abo abalina ebitundu mu kitundu ekirina omutwe, Obulamu bw’Ekikristaayo, bafunze ku bitundu byabwe. (Laba  akatundu 16 ne  19.) Olukuŋŋaana lujja kufundikirwanga n’oluyimba era n’okusaba.

 OKUSIIMA N’OKUWABULA

18. Buli luvannyuma lw’omuyizi okuwa ekitundu kye, ssentebe w’olukuŋŋaana ajja kukozesanga eddakiika emu okusiima n’okuwabula omuyizi ng’asinziira ku ekyo kye banaabanga bamuwadde okukolako. Ssentebe w’olukuŋŋaana bw’aba ayita omuyizi ku pulatifoomu, tasaanidde kwogera ssomo ly’agenda kukolako. Naye omuyizi bw’ava ku pulatifoomu, ssentebe asaanidde okumwebaza, era ayinza okwogera ku ssomo ly’abadde akolako. Asaanidde okulaga ensonga lwaki omuyizi akoze bulungi, oba n’amubuulira ensonga lwaki yeetaaga okulongoosaamu n’engeri gy’ayinza okukikolamu. Ayinza n’okwogera ku nsonga endala bw’alaba nga kijja kuganyula omuyizi oba abawuliriza. Ng’olukuŋŋaana luwedde oba mu kiseera ekirala kyonna, ssentebe ayinza okukozesa ebyo ebiri mu katabo Yoleka Okwagala, Okuyigiriza, oba mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, okwongera okuwabula omuyizi ku ssomo ly’abadde akolako, oba ku ssomo eddala lyonna.​​​—⁠⁠Okumanya obuvunaanyizibwa bwa ssentebe w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo era n’obw’omuwabuzi, laba  akatundu 19,  24, ne  25.

     OKUKUUMA EBISEERA

19Buli omu alina okukuuma ebiseera, nga mw’otwalidde ne ssentebe. Wadde ng’akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kalaga ebiseera buli kitundu kye birina okutwala, tekyetaagisa kumalayo budde bwonna bwe kiba nti ensonga zonna zivuddewo. Bwe wabaawo abasussizza mu budde, ssentebe w’olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza bwaffe oba omuwabuzi asaanidde okubawabula mu kyama. (Laba  akatundu 24 ne  25.) Olukuŋŋaana lwonna, nga mw’otwalidde okuyimba n’okusaba, lulina kumala essaawa 1 n’eddakiika 45.

 OKUKYALA KW’OMULABIRIZI AKYALIRA EBIBIINA

20. Omulabirizi akyalira ebibiina bw’aba akyalidde ekibiina kyammwe, musaanidde okugoberera enteekateeka ya wiiki eyo eri mu katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe. Naye omulabirizi ajja kuwa emboozi ye ey’eddakiika 30, mu kifo ky’ekitundu eky’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Nga ssentebe tannayita mulabirizi, ajja kusooka kuwumbawumbako bye muyize, ayogere ku binaaba mu lukuŋŋaana lwa wiiki eddako, era asome ebirango n’amabaluwa. Ng’omulabirizi amaze okuwa emboozi ye, mujja kufundikira olukuŋŋaana nga muyimba oluyimba lw’alonze. Ayinza okuyita ow’oluganda omulala n’afundikira n’okusaba. Omulabirizi bw’aba abakyalidde, abo ababeera n’enkuŋŋaana mu kisenge ekirala bajja kukuŋŋaaniranga wamu n’ekibiina kyonna. Ekibinja kisobola okubanga n’enkuŋŋaana zaakyo, wadde ng’omulabirizi akyalidde ekibiina ekiwagira ekibinja ekyo. Naye ekibinja ekyo kijja kwegattanga ku kibiina ng’omulabirizi agenda kuwa emboozi ye.

 WIIKI ERIMU OLUKUŊŊAANA OLUNENE

21. Wiiki erimu olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu oba olw’ennaku essatu, tewajja kubangawo nkuŋŋaana za kibiina. Ab’oluganda mu kibiina basaanidde okujjukizibwa nti ebyo bye twandiyize wiiki eyo, basaanidde kubiyigira waka kinnoomu, oba ng’amaka.

 WIIKI ERIMU OMUKOLO GW’EKIJJUKIZO

22. Olunaku lw’Ekijjukizo bwe lunaabangawo wakati mu wiiki, tewajja kubangawo Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo mu wiiki eyo.

  OMULABIRIZI W’OLUKUŊŊAANA LW’OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

23. Omukadde eyalondebwa akakiiko k’abakadde y’alina okukola ng’omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Alina obuvunaanyizibwa okukakasa nti olukuŋŋaana lutegekebwa bulungi era nti n’obulagirizi obuli mu kiwandiiko kino bugobererwa. Ate era alina okuwuliziganya obulungi n’omuwabuzi. Amangu ddala ng’akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kafulumye, asaanidde okulonda abo abanaakola ku bitundu byonna ebiri mu katabo ako. (Laba  akatundu 3-16 ne  24.) Bw’aba ng’alonda abo b’anaawa ebitundu, asaanidde okufaayo ku myaka gyabwe, obumanyirivu bwabwe, n’okumanya obanga omuntu aneetaaya ng’ayogera ku kitundu ekiba kimuweereddwa. Ate era asaanidde okulowooza ku bintu ebyo ng’alonda abo abanaawa ebitundu ebirala mu lukuŋŋaana. Omulabirizi w’olukuŋŋaana era asaanidde okuwa abayizi ebitundu byabwe ng’ebulayo waakiri wiiki ssatu, ng’akozesa akapapula akalaga omuyizi ky’aweereddwa okukolako (S-89). Ate era asaanidde okukakasa nti enteekateeka eriko abo abanaaba n’ebitundu ewanikibwa awateekebwa amabaluwa. Akakiiko kayinza okulondayo omukadde omulala oba omuweereza okuyamba ku w’oluganda oyo. Kyokka abakadde bokka be balina okulonda abo abanaawa ebitundu ebirala ebitali bya bayizi.

   SSENTEBE W’OLUKUŊŊAANA LW’OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

24. Buli wiiki, omu ku bakadde ajja kukola nga ssentebe w’olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, n’abaweereza abalina ebisaanyizo bayinza okukola nga bassentebe.) Oyo akoze nga ssentebe y’ajja okwanjulanga olukuŋŋaana olwo n’okulufundikira. Ate era y’ajja okwanjulanga buli kitundu ekiri mu lukuŋŋaana. Okusinziira ku muwendo gw’abakadde abali mu kibiina, naye asobola okuwa ebitundu ebimu naddala ebyo ebiba eby’okulaga vidiyo nga si ya kukubaganyako birowoozo. Asaanidde okuba mu bufunze ng’ayanjula ebitundu ebiddako. Akakiiko k’abakadde ke kajja okulondanga abakadde abalina ebisaanyizo abanaakolanga nga bassentebe. Okusinziira ku kibiina kyammwe, omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo ayinza okukola nga ssentebe emirundi mingi okusinga abakadde abalala abaalondebwa okukola nga bassentebe. Omukadde bw’aba alina ebisaanyizo okukubiriza Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina, era aba asobola okubeera ssentebe w’olukuŋŋaana luno. Mujjukizibwa nti omukadde akola nga ssentebe asaanidde okusiima abayizi ababadde n’ebitundu, era n’abawabula nga bwe kiba kyetaagisizza naye mu ngeri ey’ekisa. Ate era ssentebe y’alina obuvunaanyizibwa okukakasa nti olukuŋŋaana luggwera mu budde. (Laba  akatundu 17 ne  19.) Ssentebe bw’aba ayagadde era nga pulatifoomu ngazi, akazindaalo ak’okubiri kayinza okuteekebwa ku pulatifoomu ne kiba nti w’ayanjulira ekitundu ekiddako, oyo agenda okukiwa aba yazze dda ku pulatifoomu. Ate era ssentebe bw’aba ayagadde, ayinza okutuula ku ntebe eri ku pulatifoomu mu kitundu ky’okusoma Bayibuli ne mu kitundu kya Buulira n’Obunyiikivu. Kino kiyinza okuyambako okukuuma ebiseera.

   OMUWABUZI

25. Bwe kiba kisoboka, omukadde alina obumanyirivu mu kuyigiriza y’asaanidde okuweebwa obuvunaanyizibwa buno. Ow’oluganda ono alina obuvunaanyizibwa obw’okuwabula mu kyama abakadde n’abaweereza bwe kiba kyetaagisa, ku bikwata ku kitundu kyonna kye baba bakubirizza, nga muno mwe muli ebitundu ebiri mu lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo, emboozi za bonna ze baba bawadde, okukubiriza n’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, n’okukubiriza ekitundu eky’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. (Laba  akatundu 19.) Bwe kiba nti ekibiina kyammwe kirimu abakadde abawerako abayigiriza obulungi era nga boogezi balungi, buli mwaka obuvunaanyizibwa buno buyinza okuweebwa omukadde omulala. Tekimwetaagisa kuwabula bakadde oba baweereza ku buli kitundu kye babadde nakyo.

 EBISENGE EBIRALA

26. Okusinziira ku muwendo gw’ababuulizi, musobola okukozesa ebisenge ebirala. Buli kisenge ababuulizi mwe bagenda okuweera ebitundu byabwe kisaanidde okubaamu ow’oluganda anaawabula abalina ebitundu, bwe kiba kisoboka nga mukadde. Bwe kiba tekisoboka, omuweereza alina ebisaanyizo asobola okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo. Akakiiko k’abakadde ke kasaanidde okusalawo ani anaaweebwa obuvunaanyizibwa obwo, era obanga anaayambibwangako abalala. Ow’oluganda oyo asaanidde okugoberera obulagirizi obuweereddwa mu katundu 18. Ekisenge ekirala bwe kiba eky’okukozesebwa, ababuulizi basaanidde okugenda mu kisenge ekyo nga mwakamaliriza ekitundu, eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo. Basaanidde okukomawo mu bifo byabwe ng’abayizi bamaze okuwa ebitundu byabwe.

 VIDIYO

27. Waliwo vidiyo ezijja okukozesebwanga mu lukuŋŋaana luno. Vidiyo ezo zijja kuteekebwanga ku JW Library

© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania

S-38-LU 11/23