Ennyimba Endala

Ennyimba ezooleka essanyu n’okusiima bye tulina olw’okuba Abakristaayo.

Buliba Buti

Obulamu obulungi bunaatera okutuuka.

Nkuyimbira olw’Emirimu Gyo

Ebintu Yakuwa bye yatonda bituwuniikiriza, era bwe tubifumiitirizaako kituleetera okuyimba ennyimba ezimutendereza.

Ebintu Ebikulu

Tulina okufissaawo ebiseera okukola ebintu ebisinga obukulu, gamba ng’okusaba, okwesomesa, n’okubuulira.

Nkwagala Nnyo

Yakuwa bw’abeera mu bufumbo bwaffe buba bunywevu!

Ekifo Ekinaakuleetera Ettendo

Nga nkizo yamaanyi okuwaayo ekifo kino ekinatukuza erinnya lya Yakuwa!

Nneesiga Ggwe

Okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kituyamba okugumira ebigezo.

Siri Nzekka

Bwe tuba ne Yakuwa Katonda waffe, tetuba ffekka.

Okwagalana ng’Ab’Oluganda

Abantu ba Yakuwa bayambagana.

Totya

Bwe tufuna ebizibu tusaanidde okukijjukira nti Katonda w’ali okutuyamba.

Okunoonya Amazima

Abantu abeesimbu abaagala okumanya Katonda n’ebigendererwa bye basobola okumumanya singa bafuba okumunoonya.

Emikwano Egya Nnamaddala

Wa we tosobola okufuna emikwano egya nnamaddala?

Nja Kukuyambanga mu Mbeera Enzibu

Mu mbeera zonna ze tubaamu, mikwano gyaffe baba naffe.

Mu Maaso ga Yakuwa Tuli Omuntu Omu

Wadde nga tuli mu nsi embi, tuli bumu era tuli mu mirembe.

Mpa Obuvumu

Yakuwa Katonda atuwa obuvumu okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna

Njagala Okukuwa Ekisingayo Obulungi

Yakuwa gwe tulina okwemalirako n’okuweereza n’omutima gwaffe gwonna.

Buli Lunaku Luba n’Ebyeraliikiriza Ebyalwo

Tusobola okuba n’emirembe n’essanyu wadde nga twolekagana n’ebizibu

Beera Muvumu era wa Maanyi

Oluyimba olulungi olutuyamba okugumiikiriza.

Nneebaza Yakuwa olw’Ebitonde Bye

Waayo ebiseera okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa era omwebaze mu kusaba.

Tuli Baganda Bammwe

Buli we tubeeera tuba ba mu maka ga Yakuwa.

“Lwananga Olutalo Olulungi olw’Okukkiriza”

Wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

Yakuwa tatwabulira

Yakuwa mwetegefu okutuyamba.

Mu Nsi Empya Ejja

Akafaananyi ke tukuba ku bintu eby’omu maaso kalina kye kakola ku ndowooza yaffe. Oluyimba luno lutuyamba okulowooza ku nsi empya.

Nze Nneewaayo gy’Oli

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa.

Okwagala Tekulemererwa

Okwagala okuva eri Yakuwa tekulemererwa. Kutuwa essanyu era kutubudaabuda.

Bimukwase

Bw’oba nga wennyamidde, weeyongere okwesigama ku Yakuwa okukuwa amaanyi n’okukubudaabuda.

Tube ng’Abaana Abato

Tuyinza tutya okuba ng’abaana mu ngeri gye tulagamu okwagala?

Ggwe Kimanye

Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala, ka tube nga twolekagana na kigezo ki.

Sonyiwanga

Waliwo omuntu eyakukola ekintu ekikulumya? Okisanze nga kizibu okumusonyiwa? Laba engeri gy’oyinza okumusonyiwa.

Tudduke Embiro

Salangawo mu ngeri ey’amagezi okusobola okuwangula embiro z’obulamu.

Tunyweze Okukkiriza

Okukkiriza okunywevu kusinziira ku bintu bye tuba tukozesezza okukuzimba.

Omu Mu Bangi

Okusiima ekirabo ky’obufumbo Yakuwa kye yatuwa.

Kuuma Ebirowoozo Byo

Yakuwa asobola okukuyamba okukuuma ebirowoozo byo ng’ofunye ebikweeraliikiriza.

‘Sanyukanga’

Oluyimba olw’essanyu lutujjukiza bingi ebituletera okusanyuka.

Tuli Bumu

Wadde tuyita mu kuyigganyizibwa n’okugezesebwa, tusigala tuli bumu.

Essanyu Lyaffe Ery’Olubeerera

Yakuwa ye Nsibuko ye ssanyu lyaffe erya nnamaddala bulijjo era n’emirembe n’emirembe.

Bye Ndaba Nawe Birabe

Sanyukira mu ssubi ly’obulamu mu Nsi Empya.

Okukkiriza Kunfuula Muvumu

Lowooza ku biseera eby’Omu maaso ebirungi Yakuwa by’asuubiza olulyo lw’omuntu.

Amaka ga Yakuwa

Mu nsi eno mukyalimu abantu abanoonya amazima. Vidiyo eno ejja kukukubiriza okweyongera okunoonya abo abalinga endiga.

Obumu Butufuula ba maanyi

Obumu bwe tulina awamu n’obuyambi bwa Yakuwa bituyamba okwaŋŋanga ebigezo byonna.WEB:URLSegmentobumu-butufuula-ba-maanyi

Nnaagenda Eri Ani?

Goberera obulamu bw’omuweereza wa Yakuwa omwesigwa ng’awuliriza eddoboozi ly’omusumba.

Yakuwa Ali Wamu Nange

Tuvuunuka ebitutiisa byonna olw’o buyambi bwa Yakuwa.

Tuzeewo Omukwano

Sonyiwa eyakunyiiza, muzeewo emirembe

Yigira ku Nsobi

Bwoyigira ku nsobi obeera munyweevu.

Kyaddaaki Ensi Ejja Kubaamu Emirembe (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2022)

Ekisuubizo kya Katonda eky’e mirembe egya nnamaddala kikuyambe okugumira ebigezo.

Bwe Mmusemberera

Katonda asanyukira bonna abaagala okumusemberera ka babe nga bava mu mbeera ki.

Ntuuse Eka

Okyasobola okukomawo eka.

Atumanyi

Yakuwa amanyi buli omu ku ffe, era ategeera byonna bye tuyitamu.

Tweyongere Okubuulira

Weesige Yakuwa, era weeyongere okubuulira wadde ng’otidde.

Okunyweza Okukkiriza Kwange

Fuba okunyweza okukkiriza kwo.

Emirembe egy’Olubeerera

Emirembe egiva eri Yakuwa giba gya lubeerera.

“Amawulire Amalungi”! (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2024)

Okuviira ddala mu kyasa ekyasooka, abantu babadde bakola omulimu ogusingayo obukulu ogw’okulangirira amawulire amalungi; Yesu kennyini y’awoma omutwe mu mulimu ogwo era bamalayika kinnoomu baguwagira.