Buuka ogende ku bubaka obulimu

Vidiyo—Enjigiriza za Bayibuli Enkulu

Vidiyo zino ennyimpimpi zinnyonnyola eby’okuddamu Bayibuli by’ewa mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza era zikwataganyizibwa n’amasomo ag’enjawulo mu katabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

 

Ensi n’Obwengula Byatondebwa?

Abantu bangi tebakkiriza ebyo Bayibuli by’eyogera ku kutondebwa kw’ebintu, era abamu bagamba nti ezo ngero bugero. Ebyo Bayibuli by’eyogera bikola amakulu?

Katonda Alina Erinnya?

Katonda alina ebitiibwa bingi, gamba nga Omuyinza w’Ebintu Byonna, Omutonzi, ne Mukama. Naye erinnya lya Katonda lisangibwa mu Bayibuli emirundi nga 7,000.

Kisoboka Okubeera Mukwano gwa Katonda?

Okumala emyaka mingi, abantu babadde n’obwetaavu bw’okumanya Omutonzi waabwe. Bayibuli esobola okukuyamba okubeera mukwano gwa Katonda. Okubeera mukwano gwa Katonda kitandikira ku kumanya erinnya lye.

Ani Yawandiika Bayibuli?

Bwe kiba nti yawandiikibwa bantu, kiba kituufu okugiyita Ekigambo kya Katonda? Tukakasa tutya nti ebirimu byava eri Katonda?

Tukakasa tutya nti Bayibuli Ntuufu?

Bwe kiba nti Bayibuli kigambo kya Katonda, tewali kitabo kirala kye tuyinza kugigeraageranyaako.

Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

Ensi yaffe erabika bulungi nnyo. Eri mu kifo ekituufu okuva ku njuba, yeewunzikidde ku kipimo ekituufu, era yeetooloola ku sipiidi entuufu. Lwaki Katonda yateeka amaanyi mu kutonda ensi?

Abafu Bali mu Mbeera Ki?

Bayibuli eyogera ku kiseera abantu bangi lwe balizuukizibwa nga Laazaalo bwe yazuukizibwa.

Ddala Katonda Ayokya Abantu mu Muliro Ogutazikira?

Bayibuli egamba nti olw’okuba “Katonda kwagala,” tayinza kubonyaabonya bantu olw’ebibi bye baakola emabega.

Yesu Kristo Ye Katonda?

Yesu Kristo ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? Oba Yesu ne Katonda ba njawulo?

Lwaki Yesu Yafa?

Bayibuli eraga nti okufa kwa Yesu kwali kukulu nnyo. Okufa kwe kutuganyula kutya?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Yesu bwe yali ku nsi, ekintu kye yasinga okwogerako ng’ayigiriza bwe Bwakabaka bwa Katonda. Okumala ebyasa bingi, abantu babadde basaba nti Obwakabaka bwa Katonda bujje.

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Okufuga mu 1914

Emyaka egisukka mu 2,600 emabega, Katonda yaleetera kabaka ow’amaanyi okuloota ekirooto era ng’ebyo bye yalaba mu kirooto bituukirizibwa mu kiseera kino.

Ensi Ekyuse Nnyo Okuva mu 1914

Ebintu ebibaddewo mu nsi era n’engeri abantu gye bazze beeyisaamu okuviira ddala mu 1914 biraga nti obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku “nnaku ez’enkomerero” butuukiriziddwa.

Katonda y’Aleeta Obutyabaga?

Abantu babiri abaakosebwa obutyabaga bannyonnyola kye baayiga mu Bayibuli.

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

Abantu bangi beebuuza lwaki ensi ejjudde obukyayi n’okubonaabona. Bayibuli etuyamba okumanya lwaki era etubudaabuda.

Katonda Akkiriza Okukozesa Ebifaananyi mu Kusinza?

Bisobola okutuyamba okusemberera Katonda gwe tutayinza kulaba?

Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kibi mu maaso ga Katonda?

Ebigambo “ebifaananyi eby’obuseegu” mwe biri mu Bayibuli? Tuyinza tutya okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kulaba ebifaananyi eby’obuseegu?