Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Yesu Yali Musajja Mulungi Bulungi?

Ddala Yesu Yali Musajja Mulungi Bulungi?

Bayibuli ky’egamba

 Yesu teyali bubeezi musajja mulungi. Mu butuufu, Yesu ye musajja akyasinze okukwata ku bulamu bw’abantu mu byafaayo byonna. Lowooza ku bintu bino bannabyafaayo n’abawandiisi abatutumufu bye baayogera ku Yesu:

 “Yesu ow’omu Nazaaleesi . . . ye muntu asingayo okuba omututumufu mu byafaayo.”—H. G. Wells, munnabyafaayo Omungereza.

 “Engeri [Yesu] gye yatambuzaamu obulamu bwe y’ekyasinzeeyo okukwata ku bantu mu byafaayo byonna era buli lukya omuwendo gw’abantu abakwatibwako gweyongera.”—Kenneth Scott Latourette, munnabyafaayo era omuwandiisi Omumerika.

 Bayibuli eraga ensonga lwaki mu bantu bonna abalungi abaali babadde ku nsi, Yesu y’akyasinze okukwata ku bulamu bw’abantu. Yesu bwe yabuuza abagoberezi be ab’oku lusegere engeri gye baali bamutwalamu, omu ku bo yamuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”—Matayo 16:16.