Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Kitabo kya Bazungu?

Ddala Bayibuli Kitabo kya Bazungu?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyawandiikibwa bazungu. Abasajja bonna Katonda be yakozesa okuwandiika Bayibuli baava mu Asiya. Bayibuli teraga nti amawanga agamu ga waggulu ku malala. Mu butuufu egamba nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”—Ebikolwa 10:34, 35.