Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Ppaasika?

Bayibuli Eyogera Ki ku Ppaasika?

Bayibuli ky’egamba

 Ppaasika teyeesigamiziddwa ku Bayibuli. Ebyafaayo ebikwata ku Ppaasika biraga nti yasibuka mu bulombolombo obukwata ku kuzaala obwakolebwanga edda. Lowooza ku bino wammanga.

  1.   Erinnya: Ekitabo Encyclopædia Britannica kigamba nti: ‘Ensibuko y’ekigambo ky’Olungereza Easter (Ppaasika) temanyiddwa bulungi; abamu bagamba nti munnaddiini Omungereza ayitibwa Venerable Bede eyaliwo mu kyasa eky’omunaana ye yatandikawo ekigambo ekyo ng’akiggya ku linnya lya katonda eyasinzibwanga mu Bungereza ayitibwa Eostre.’ Abalala erinnya eryo balikwataganya ne katonda w’Abafoyiniikiya ow’oluzaalo ayitibwa Astarte, eyalina akakwate ne katonda ow’Abababulooni ayitibwa Ishtar.

  2.   Obumyu: ‘Abantu b’omu Bulaaya ne mu nsi za Buwalabu abaakuzanga emikolo egy’ekikaafiiri egyabangawo ng’ekiseera ky’obutiti kiwedde, baakozesanga obumyu’ ng’akabonero akakiikirira okuzaala.​—Encyclopædia Britannica.

  3.   Amagi: Okusinziira ku nkuluze eyitibwa Funk & Wagnalls Standard Dictionary of Folklore, Mythology and Legend, okunoonya amagi ga Ppaasika agalowoozebwa nti galeetebwa akamyu ka Ppaasika, “si kazannyo buzannyo ak’abaana, wabula kalombolombo akaasibuka mu mikolo egy’oluzaalo egyakolebwanga” abakaafiiri. Abantu abamu balowooza nti eggi lya Ppaasika eritonaatoneddwa, “mu ngeri ey’ekyamagero, lireeta essanyu, obugagga, n’obukuumi.”—Traditional Festivals.

  4.   Engoye Empya eza Ppaasika: “Omuntu bwe yabanga ayambadde olugoye olutali lupya n’abuuza katonda omukazi, Eastre, eyasinzibwanga abantu mu nsi za Bulaaya ez’omu bukiikakkono, kyatwalibwanga nti yali tassizzaamu katonda oyo kitiibwa era nti ebintu byabanga bijja kumugendera bubi.”—The Giant Book of Superstitions.

  5.   Okusaba Okubaawo ng’Enjuba Evaayo: Okusaba okwo kukwataganyizibwa n’obulombolombo abantu ab’edda abaasinzanga enjuba “bwe baakolanga okwaniriza enjuba ng’eddamu okulabika oluvannyuma lw’ekiseera ky’obutiti, kubanga enjuba yasobozesanga ebimera byonna okuddamu obulamu.”—Celebrations—The Complete Book of American Holidays.

 Ekitabo ekiyitibwa The American Book of Days kiraga bulungi ensibuko ya Ppaasika. Kigamba nti: “Tewali kubuusabuusa nti Ekkanisa yaddira obulombolombo bw’abakaafiiri n’ebuyingiza mu Bukristaayo.”

 Bayibuli egaana abantu okusinza Katonda nga bagoberera obulombolombo obutamusanyusa. (Makko 7:6-8) Mu 2 Abakkolinso 6:17 tusoma nti: “‘Mubeeyawuleko,’ bw’atyo Yakuwa, bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu.’” Ppaasika yasibuka mu bakaafiiri era abo bonna abaagala okusanyusa Katonda tebalina kugikuza.