Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kiba Kituufu Abakristaayo Okukozesa Enkola Ezigema Okuzaala?

Kiba Kituufu Abakristaayo Okukozesa Enkola Ezigema Okuzaala?

Bayibuli ky’egamba

 Yesu talagirangako bagoberezi be kuzaala baana oba obutazaala baana. Era tewali n’omu ku bayigirizwa ba Yesu eyawaako ekiragiro ng’ekyo. Bayibuli terina w’eyogerera butereevu ku nkola ezigema okuzaala. N’olwekyo, mu nsonga eyo, tusaanide okukolera ku musingi oguli mu Abaruumi 14:12 awagamba nti: “Buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.”

 Omwami n’omukyala be balina okwesalirawo ku lwabwe obanga banaazaala abaana oba nedda. Era basobola okusalawo baana bameka be banaazaala na ddi lwe banaabazaala. Singa omusajja n’omukazi basalawo okukozesa enkola egema okuzaala etezingiramu kuggyamu lubuto, ekyo kiri eri bo. Tewali n’omu asaanidde kubasalira musango.—Abaruumi 14:4, 10-13.