Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abakulu b’Eddiini Abaali Abakambwe Ennyo Baddibwamu mu Ngeri ey’Obukkakkamu

Abakulu b’Eddiini Abaali Abakambwe Ennyo Baddibwamu mu Ngeri ey’Obukkakkamu

 Artur, omulabirizi w’ekitundu mu Armenia, yali akyalidde ekibiina ekimu eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Yakizuula nti ababuulizi ab’omu kibiina ekyo baali tebannatandika kubuulira mu bifo ebya lukale nga bakozesa akagaali okuli ebitabo. Okusobola okubakubiriza okwenyigira mu nkola eyo ey’okubuulira, Artur ne mukyala we Anna, awamu n’omubuulizi omulala ayitibwa Jirayr, baateeka akagaali okuli ebitabo mu kabuga akamu. Baalonda ekifo awayita abantu abangi.

 Abantu baatandikirawo okutwala ebitabo. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, n’abantu abaali bataagala Bajulirwa ba Yakuwa baalaba ekyali kigenda mu maaso. Abakulu b’eddiini babiri bajja awaali akagaali, era omu ku bo n’akasamba. Oluvannyuma yakuba Artur oluyi mu maaso, gaalubindi ze yali ayambadde ne zigwa. Artur, Anna, ne Jirayr baagezaako okukkakkanya abakulu b’eddiini abo naye ne balemwa. Baagezaako okumenya akagaali era ne basaasaanya ebitabo byonna. Abakulu b’eddiini abo bwe baamala okuvuma Abajulirwa ba Yakuwa abo n’okubatiisatiisa, baavaawo ne bagenda.

 Artur, Anna, ne Jirayr baagenda ku poliisi y’omu kitundu ne bagitegeeza ebyali bibaddewo. Bannyonnyola ebyali bibaddewo, oluvannyuma ne babuulira abasirikale ba poliisi n’abakozi abalala ebikwata ku Bayibuli. Abajulirwa abo abasatu baatwalibwa mu ofiisi y’omukulu wa poliisi eyo. Mu kusooka, yali ayagala kumunnyonnyola mu bujjuvu ebyali bibaddewo. Naye bwe yakimanya nti Artur, omusajja eyali ow’ekiwago teyaddiza abo abaali bamukubye, yalekera awo okubuuza ebibuuzo ebikwata ku musango n’atandika okubuuza ebikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kyabaviirako okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli okumala essaawa nnya nnamba! Omukulu wa poliisi yakwatibwako nnyo era n’agamba nti: “Eddiini yammwe nga nnungi nnyo! Nange njagala kugyegattako!”

Artur ne Anna

 Olunaku olwaddirira, Artur bwe yali azzeeyo okubuulira ku kagaali, omusajja eyali yeetegerezza ebyali bibaddewo yamutuukirira. Omusajja oyo yasiima nnyo Arthur olw’okusigala nga mukkakkamu n’obuteesasuza. Yagattako nti bye yalaba byamuleetera okuggya obwesige mu bakulu b’eddiini.

 Ku lunaku olwo, omukulu wa poliisi yayita Arthur addeyo ku poliisi. Kyokka mu kifo ky’okumubuuza ebikwata ku musango gwe baali bawaabye, yamubuuza ebibuuzo ebirala ebikwata ku Bayibuli. Abasirikale ba poliisi abalala babiri baabeegattako.

 Ku lunaku olwaddirira, Artur yaddamu n’akyalira omukulu wa poliisi asobole okumulaga vidiyo ezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Omukulu wa poliisi oyo yayita abasirikale abalala ne balabira wamu vidiyo.

 Olw’enneeyisa embi ey’abakulu b’eddiini, abasirikale ba poliisi baabuulirwa amawulire amalungi era ekyo kyabayamba okufuna ekifaananyi ekirungi ku Bajulirwa ba Yakuwa.