Buuka ogende ku bubaka obulimu

Omukulu w’Eddiini Afuna eby’Okuddamu

Omukulu w’Eddiini Afuna eby’Okuddamu

 Lumu, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Eliso, bwe yali ayigiriza omukyala Bayibuli mu maka ge, omukyala oyo yafuna abagenyi be yali tasuubira. Abagenyi abo yali mukulu wa ddiini ne mukyala we. Eliso yali akitegeddeko nti baali baakafiirwa mutabani waabwe.

 Eliso bwe yabasaasira olw’okufiirwa mutabani waabwe, omukulu w’eddiini oyo ne mukyala we baatulika ne bakaaba. Nga musunguwavu, omukulu w’eddiini yagamba nti: “Simanyi nsonga lwaki Katonda yaleka ekigezo ekyo okututuukako. Ayinza atya okuntwalako omwana wange omu yekka! Mmaze emyaka 28 nga mpeereza Katonda, era nkoze ebirungi bingi. Ddala bw’atyo bw’ansasudde! Lwaki Katonda yasse omwana wange?”

 Eliso yannyonnyola abafumbo abo nti Katonda si ye yatta omwana waabwe. Ate era yakubaganya nabo ebirowoozo ku kinunulo, ku kuzuukira, ne ku nsonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo. Omukulu w’eddiini oyo ne mukyala we baagamba Eliso nti yali azzeemu ebibuuzo bye baali basaba Katonda abayambe okufuna eby’okuddamu.

 Mu wiiki eyaddirira, omukulu w’eddiini ne mukyala we beegatta ku mukyala Eliso gwe yali ayigiriza Bayibuli ne bayigira wamu. Ku olwo baali batuuse ku ssuula egamba nti, “Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa,” mu katabo Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? Abafumbo abo beenyigira mu bujjuvu mu kuyiga okwo.

 Oluvannyuma bombi baagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kibuga Tbilisi ekya Georgia, era baakwatibwako nnyo olw’okwagala n’obumu bye baalabayo. Engeri ezo baali bafubye okuziyigiriza abantu ab’omu kkanisa yaabwe naye ne balemererwa.