Buuka ogende ku bubaka obulimu

“Ekikolwa Kimu Ekyoleka Obwesigwa”

“Ekikolwa Kimu Ekyoleka Obwesigwa”

 Danielle, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abeera mu South Africa, yasanga ensawo ya kasitoma we gye yali yeerabidde mu kifo we banywera kaawa. Mu nsawo eyo mwalimu akasawo akalala akalimu ssente ne kaadi za bbanka. Danielle yanoonya endagiriro ya nnannyini nsawo eyo oba ennamba ye ey’essimu asobole okugimuddiza, naye n’asanga linnya lye lyokka. Yagezaako okunoonya endagiriro ye ng’ayitira mu bbanka naye n’atagifuna. Naye Danielle teyalekera awo kunoonya nnannyini nsawo eyo. Yakuba ku nnamba y’omusawo eyali ku lisiiti y’eddwaliro gye yasanga mu nsawo. Omuwala akola ku ddwaliro eyakwata essimu ya Danielle, yakkiriza okuwa nnannyini nsawo ennamba ya Danielle.

 Omusajja oyo yeewuunya nnyo bwe yafuna essimu okuva mu ofiisi y’omusawo we nga bamugamba nti Danielle yalaba ensawo ye era baagala kugimuddiza. Bwe yagenda okunona ensawo ye, yasanga Danielle ne taata we. Baakozesa akakisa ako okumunnyonnyola ensonga lwaki baafuba nnyo okumuzuula. Baamunnyonnyola nti olw’okuba Bajulirwa ba Yakuwa bafuba nnyo okukolera ku ebyo Bayibuli by’egamba. Eyo y’ensonga lwaki bafuba bulijjo okuba abeesigwa.—Abebbulaniya 13:18.

 Oluvannyuma lw’essaawa ntono, omusajja oyo yaweereza Danielle ne taata we mesegi ng’abeebaza okumuddiza ensawo ye ne ssente ze. Mesegi yali egamba nti: “Mbeebaza nnyo olw’okufuba okunnoonya. Nnasanyuka nnyo okubasisinkana gwe ne taata wo, era sijja kwerabira kwagala ne kisa bye mwandaga. Okulaga okusiima kwange, nnandyagadde okubaako akalabo ke mbawa. Nkimanyi nti mwefiiriza bingi okuweereza Katonda. Obwesigwa bwa Danielle bwandaga nti muli bantu balungi. Mwebale nnyo, era nsaba Katonda awe omukisa obuweereza bwammwe.”

 Oluvannyuma lw’emyezi mitono, taata wa Danielle yaddamu n’asisinkana omusajja oyo. Omusajja oyo yamunnyonnyola ekyaliwo bwe yalonda akasawo akaalimu ssente ng’agenze okugula ebintu. Bwe yazuula omukyala eyali nnannyini kasawo ako n’akamuddiza, yamunnyonnyola ekyamuleetera okukola bw’atyo. Yamugamba nti gye buvuddeko, waaliwo omuntu eyamukolera ekintu kye kimu. Omusajja oyo yagamba nti: “Ekikolwa kimu ekyoleka obwesigwa n’ekisa kiviirako abalala okuba abeesigwa, ekyo ne kifuula obulamu okuba obulungi.”