Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bagambe nti Obaagala

Bagambe nti Obaagala

 Ong-Li y’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era abeera mu Bulgaria. Yali ayigiriza Bayibuli omukyala ayitibwa Zlatka, naye omwami w’omukyala oyo teyabeegattangako nga bayiga. Ong-Li agamba nti: “Bwe twali tusoma ku nsonga ekwata ku maka, nnaggumiza obukulu bw’okugamba abaami baffe n’abaana baffe nti tubaagala. Zlatka yantunuulira nga munakuwavu era n’aŋŋamba nti, yali tagambangako mwami we ne muwala waabwe ow’emyaka omwenda nti abaagala!”

 Zlatka yamba nti, “Ndi mwetegefu okubakolera ekintu ekirala kyonna, naye sisobola kubagamba bigambo ebyo.” Era yagattako nti, “Maama wange taŋŋambangako nti anjagala, era ne jjajja teyagambako maama nti amwagala.” Ong-Li yalaga Zlatka ekyawandiikibwa ekiraga nga Yakuwa agamba Yesu nti amwagala. (Matayo 3:17) Yakubiriza Zlatka okusaba Yakuwa amutegeeze ku nsonga eyo era n’okufuba okugamba omwami we ne muwala we nti abaagala.

 Ong-Li agamba nti: “Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, Zlatka yaŋŋamba nti yali asabye Yakuwa ku nsonga eyo. Omwami we bwe yakomawo awaka, yamugamba nti yali ayize mu Bayibuli nti kikulu nnyo omukyala okuwa omwami we ekitiibwa n’okumwagala. Oluvannyuma lw’okusiriikiriramu, yagamba omwami we nti amwagala nnyo! Muwala waabwe bwe yakomawo awaka yamugwa mu kafuba n’amugamba nti amwagala nnyo! Zlatka yaŋŋamba nti: ‘Kati mpulira obuweerero. Emyaka gino gyonna mbadde sigambangako ba mu maka gange nti mbaagala, naye Yakuwa yannyamba ne nsobola okukibagamba.’

Ong-Li akyeyongera okuyamba abantu b’omu kitundu kye okuyiga Bayibuli

 Ong-Li agamba nti, “Nga wayiseewo wiiki emu, omwami wa Zlatka yaŋŋamba nti: ‘Abantu bangi baŋŋamba nti mukyala wange tasaanidde kuyiga naawe Bayibuli, naye nkirabye nti okuyiga kwe kutuyambye nnyo ng’amaka. Kati tuli basanyufu mu maka era tweyongedde okwagalana.’”