Buuka ogende ku bubaka obulimu

Baayimirira Okuyamba

Baayimirira Okuyamba

 Lumu, Bob bwe yali avuga emmotoka ku sipiidi eya waggulu (ku sipiidi ya kiromita 100 buli ssaawa), mu Alberta ekya Canada, omupiira gwayabika. Mu kusooka Bob teyamanyirawo kyali kibaddewo era yeeyongera okuvuga mayiro ssatu ezaali zisigaddeyo okutuuka awaka.

 Mu bbaluwa Bob gye yawandiikira ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu kitundu ekyo, yannyonnyola ekyaliwo. Yagamba nti: “Abavubuka bataano abaali mu mmotoka yaabwe bansemberera ne bantegeeza nti omupiira gw’emmotoka yange gwali gwabise. Twayimirira ne bannyamba okukyusa omupiira gw’emmotoka yange. Nnali simanyi na kumanya obanga nnina omupiira omulala ne jjeeke. Baagenda wansi w’emmotoka ne baggyayo omupiira ne jjeeke ne bankyusiza omupiira nga nze ntudde ku mabbali g’ekkubo mu kagaali kange. Obudde bwali bunnyogovu nnyo era ng’omuzira gugwa. Wadde nga baali bambadde bulungi, bankyusiza omupiira ne nsobola okweyongerayo. Ekyo nnali sisobola kukikola bw’omu.

 “Nneebaza nnyo abavubuka abo Abajulirwa ba Yakuwa abannyamba. Baali bazze kubuulira bantu ba mu kitundu ekyo. Mu butuufu, abavubuka abo bakolera ku ebyo bye babuulira. Bantaasa ekizibu eky’amaanyi kye nnali njolekedde, era mbasiima nnyo. Ani yali amanyi nti nnandisisinkanye bamalayika ng’abo ku olwo?”