Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abasirikale ba Poliisi Bawerekera Joseph

Abasirikale ba Poliisi Bawerekera Joseph

 Bw’oba ng’oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, osobola okukuba akafaananyi ng’abasirikale ba poliisi bakuwerekerako ng’obuulira nnyumba ku nnyumba? Ekyo kye kyatuuka ku Joseph abeera mu Micronesia mu 2017. Yali wamu n’ababuulizi abalala basatu nga babuulira abantu b’omu bizinga ebyesudde.

 Ku ssaawa nga mukaaga ez’omu ttuntu, Abajulirwa ba Yakuwa abo abana baatuuka ku kazinga akamu akaliko abantu nga 600. Meeya w’akazinga ako yabasisinkana ku lubalama. Joseph annyonnyola ekyaddirira. Agamba nti: “Meeya yatugamba nti agenda kutuwa emmotoka ya poliisi etutuuse ku nnyumba zonna. Kyatwewuunyisa nnyo naye tetwakkiriza. Twali twagala okutuukirira abantu mu ngeri eya bulijjo, nga tubuulira nnyumba ku nnyumba.”

 Ababuulizi abo baatandika okutambula basobole okutuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Bagamba nti: “Abantu baatwaniriza bulungi era baali baagala okuwuliriza obubaka bwaffe. N’ekyavaamu, twamala ekiseera kiwanvu ku buli nnyumba.”

 Oluvannyuma lw’ekiseera, emmotoka ya poliisi yayita ku Joseph emirundi ebiri, omulundi ogw’okusatu n’eyimirira. Abasirikale ba poliisi baabuuza Joseph obanga yandyagadde bamutwale ku nnyumba ze yali tannatuukako. Joseph agamba nti: “Sakkiriza, naye ku luno abasirikale baalemerako ne baŋŋamba nti, ‘Olw’okuba osigazza obudde butono, ka tukutwale ku nnyumba ezisigaddeyo.’ Nnali sisobola kugaana kubanga waali wakyasigaddeyo ennyumba eziwerako. Buli nnyumba gye twabanga tunaatera okutuukako, abasirikale baambuuliranga erinnya lya nnannyini nnyumba eyo, era ne baŋŋamba nti singa tewabaawo aggulawo nga nkonkonye, bandikubye eŋŋombe.

 “Olw’obuyambi obwo bwe twafuna, twasobola okutuuka ku buli nnyumba ku lunaku olwo. Twagaba ebitabo bingi era twakola enteekateeka okuddayo eri abantu abaasiima obubaka bwaffe.”

 Abasirikale ba poliisi baagamba Joseph nti baanyumirwa nnyo okwenyigira mu kubunyisa amawulire amalungi. Ababuulizi abo baava ku kazinga ako ng’enjuba egwa, era abasirikale baabasiibula nga basanyufu era nga bakutte ebitabo bye baali bafunye.