Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Mazaalibwa?

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Mazaalibwa?

 Abajulirwa ba Yakuwa tetukuza mazaalibwa kubanga tukkiriza nti emikolo ng’egyo tegisanyusa Katonda. Wadde nga Bayibuli tegaana butereevu kukuza mazaalibwa, etuyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku bintu ebitali bimu ebikolebwa ku mazaalibwa. Ka tulabe ebintu bina ebikwata ku mazaalibwa n’ebyawandiikibwa ebiyinza okutuyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kukuza amazaalibwa.

  1.   Okukuza amazaalibwa kwasibuka mu madiini ag’ekikaafiiri. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Funk & Wagnalls Standard Dictionary of Folklore, Mythology, and Legend, okukuza amazaalibwa kwasibuka mu nzikiriza egamba nti ku lunaku omuntu lwe yazaalibwa, “emyoyo emibi gisobola okumulumba” era nti “okubeerawo kwa mikwano gye ng’akuza amazaalibwa ge era n’okumwagaliza amazaalibwa amalungi, kimuwa obukuumi.” Ekitabo ekiyitibwa The Lore of Birthdays kigamba nti mu biseera eby’edda, okukuza olunaku omuntu lwe yazaalibwa kyali “kikulu nnyo mu kumuyamba okumanya ebinaamutuukako mu biseera eby’omu maaso” nga basinziira “kifo emmunyeenye ye we yali ku lunaku lwe yazaalibwa.” Ekitabo ekyo era kigattako nti “okukoleeza emisubbaawa ku lunaku omuntu lw’akuza amazaalibwa ge n’okumwagaliza amazaalibwa amalungi, kimusobozesa okufuna amaanyi ag’enjawulo.”

     Kyokka Bayibuli evumirira obulaguzi, obusamize, ‘n’ebintu ng’ebyo.’ (Ekyamateeka 18:14; Abaggalatiya 5:19-21) Mu butuufu, emu ku nsonga lwaki Katonda yazikiriza ekibuga Babulooni eky’edda eri nti abantu b’omu kibuga ekyo baali balaguzisa emmunyeenye. (Isaaya 47:11-15) Abajulirwa ba Yakuwa tetulondoola nsibuko ya buli mukolo ogukuzibwa. Naye ebyawandiikibwa bwe bitulaga endowooza ya Katonda ku mukolo ogumu, ekyo tetukibuusa maaso.

  2.   Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa. Ekitabo ekiyitibwa World Book Encyclopedia kigamba nti Abakristaayo abaasooka “baatwalanga okukuza amazaalibwa g’omuntu yenna ng’omukolo ogw’ekikaafiiri.” Bayibuli eraga nti abatume ba Yesu n’abantu abalala Yesu be yayigiriza obutereevu, baateerawo Abakristaayo bonna ekyokulabirako kye basaanidde okugoberera.​—2 Abassessalonika 3:6.

  3.   Omukolo gwokka Abakristaayo gwe balina okukuza gwe gw’okujjukira okufa kwa Yesu, so si amazaalibwa ge. (Lukka 22:17-20) Ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa, kubanga Bayibuli egamba nti “olunaku olw’okufiirako lusinga olw’okuzaalibwako.” (Omubuulizi 7:1) Ekiseera Yesu we yafiira, yali amaze okukola erinnya eddungi mu maaso ga Katonda; ekyo ne kifuula olunaku lwe yafiirako okuba olukuku ennyo okusinga olunaku lwe yazaalibwa.​—Abebbulaniya 1:4.

  4.   Bayibuli teraga nti waliwo omuweereza wa Katonda yenna eyakuza amazaalibwa ge. Ekyo tekyabuusibwa bubuusibwa maaso, kubanga Bayibuli eyogera ku mazaalibwa ga mirundi ebiri agaakuzibwa abantu abaali bataweereza Katonda. Kyokka amazaalibwa ago gombi tegoogerwako bulungi.​—Olubereberye 40:20-22; Makko 6:21-29.

Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa bawulira nga balina kye basubwa olw’obutakuza mazaalibwa?

 Okufaananako abazadde bonna abalungi, Abajulirwa ba Yakuwa balaga abaana baabwe okwagala omwaka gwonna. Ekyo bakikola nga bawa abaana baabwe ebirabo era nga basanyukirako wamu nabo. Bafuba okukoppa Katonda awa abaana be ebirungi ekiseera kyonna. (Matayo 7:11) Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa tebawulira nga balina kye basubwa, ng’ebigambo bino abamu ku bo bye baayogera bwe biraga:

  •   “Kisanyusa nnyo bw’ofuna ekirabo ng’obadde tokisuubira.”​—Tammy, wa myaka 12.

  •   “Wadde nga bazadde bange tebampa birabo ku lunaku lwe nnazaalibwa, babimpa ku nnaku endala. Ekyo kinsanyusa nnyo kubanga mba sibisuubira.”​—Gregory, wa myaka 11.

  •   “Olowooza eddakiika ekkumi, bukeeki obutonotono, n’okuyimba, kuba kujaguza kwa maanyi? Jjangu eka olabe okujaguza kwennyini bwe kubeera!”​—Eric, wa myaka 6.