Buuka ogende ku bubaka obulimu

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa Kye Ki?

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa Kye Ki?

 Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo abatonotono abawa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna obulagirizi. Emirimu gyabwe gigwa mu biti bibiri:

  •   Balabirira omulimu gw’okuteekateeka obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli bwe tufuna okuyitira mu bitabo ne vidiyo, mu nkuŋŋaana, ne mu masomero gy’Abajulirwa ba Yakuwa.​—Lukka 12:42.

  •   Balabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogukolebwa mu nsi yonna ogukwata ku kubuulira, era n’okukakasa nti ssente eziweebwayo zikozesebwa bulungi.

 Akakiiko Akafuzi kagoberera enkola y’abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka, abaasalangawo ensonga enkulu ku lw’ekibiina kyonna Ekikristaayo. (Ebikolwa 15:2) Okufaananako abasajja abo abaali abeesigwa, abasajja abali ku Kakiiko Akafuzi si be bakulembeze b’ekibiina Ekikristaayo. Bagoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli, era bakimanyi nti Yakuwa Katonda yalonda Yesu Kristo okuba omukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo.​—1 Abakkolinso 11:3; Abeefeso 5:23.

Baani Abali ku Kakiiko Akafuzi?

 Abali ku Kakiiko Akafuzi be bano: Kenneth Cook, Jr., Gage Fleegle, Samuel Herd, Geoffrey Jackson, Stephen Lett, Gerrit Lösch, Mark Sanderson, David Splane, ne Jeffrey Winder. Baweerereza ku kitebe kyaffe ekikulu mu nsi yonna ekiri e Warwick, New York, mu Amerika.

Akakiiko Akafuzi Kategekeddwa Katya?

 Akakiiko Akafuzi kassaawo obukiika mukaaga obulabirira emirimu egitali gimu, era buli ali ku Kakiiko Akafuzi aweerereza mu kamu ku bukiiko obwo oba obusingawo.

  •   Akakiiko k’Abo Abakwanaganya: Kawa obulagirizi ku nsonga ezikwata ku by’amateeka n’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga, ku nsonga ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa nga bayigganyizibwa olw’ebyo bye bakkiririzaamu, era ne ku nsonga endala eziba ziguddewo ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.

  •   Akakiiko Akalabirira Ababeseri: Kalabirira abo abaweerereza ku Beseri mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.

  •   Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo: Kalabirira omulimu gw’okukuba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, ogw’okuzimba ebizimbe mwe tusinziza, ofiisi awavvuunulirwa ebitabo, ne ofiisi z’amatabi.

  •   Akakiiko k’Obuweereza: Kalabirira omulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’​—Matayo 24:14.

  •   Akakiiko Akayigiriza: Kalabirira omulimu gw’okuteekateeka obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli bwe tufuna okuyitira mu nkuŋŋaana, mu masomero, mu by’okuwuliriza, ne mu vidiyo.

  •   Akakiiko Akawandiisi: Kalabirira omulimu ogw’okuteekateeka obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli obuli mu bitabo ne ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, era kalabirira n’omulimu gw’okuvvuunula.

 Ng’oggyeeko emirimu gye kakola okuyitira mu bukiiko obwo, Akakiiko Akafuzi katuula buli wiiki okwogera ku byetaago by’ekibiina. Mu nkuŋŋaana ezo, abo abali ku Kakiiko Akafuzi bakubaganya ebirowoozo ku ekyo Ebyawandiikibwa kye bigamba, era bagoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ne bafuba okussa ekimu ku ekyo kyonna ekiba kisaliddwawo.​—Ebikolwa 15:25.

Abayambi ku Kakiiko Akafuzi be baani?

Bano be Bakristaayo abeesigwa abaweerereza mu bukiiko bw’Akakiiko Akafuzi. (1 Abakkolinso 4:2) Balina obumanyirivu mu kulabirira emirimu egikolebwa obukiiko mwe baweerereza, era babaawo mu nkuŋŋaana z’obukiiko obwo ezibaawo buli wiiki. Bawa amagezi ku mirimu egikolebwa obukiiko obwo, bassa mu nkola ebyo obukiiko bye buba busazeewo, era beetegereza okulaba ebivudde mu ebyo ebiba bisaliddwawo. Ate era Akakiiko Akafuzi kabalonda okukyalira Abajulirwa ba Yakuwa mu bitundu ebitali bimu mu nsi, oba okubaako okwogera kwe bawa mu nkuŋŋaana ezitali zimu, gamba ng’olukuŋŋaana olwa buli mwaka ne ku matikkira g’essomero lya Gireyaadi.

ABAYAMBI KU KAKIIKO AKAFUZI

Akakiiko

Erinnya

Ak’Abo Abakwanaganya

  • Ekrann, John

  • Gillies, Paul

Akalabirira Ababeseri

  • Grizzle, Gerald

  • LaFranca, Patrick

  • Molchan, Daniel

  • Walls, Ralph

  • Winder, Jeffrey

Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo

  • Butler, Robert

  • Corkern, Harold

  • Glockentin, Gajus

  • Gordon, Donald

  • Luccioni, Robert

  • Reinmueller, Alex

  • Sinclair, David

Ak’Obuweereza

  • Breaux, Gary

  • Dellinger, Joel

  • Fleegle, Gage

  • Hyatt, Seth

  • Mavor, Christopher

  • Perla, Baltasar, Jr.

  • Smith, Jonathan

  • Turner, William, Jr.

  • Weaver, Leon, Jr.

Akayigiriza

  • Curzan, Ronald

  • Flodin, Kenneth

  • Malenfant, William

  • Noumair, Mark

  • Schafer, David

Akawandiisi

  • Ciranko, Robert

  • Mantz, James

  • Marais, Izak

  • Martin, Clive

  • Myers, Leonard

  • Smalley, Gene

  • van Selm, Hermanus